Ensuula 20

1 Awo olwatuukire mu mwaka ogw'omusanvu mu mwezi ogw'okutaanu ku lunaku olw'omwezi olw'eikumi, abamu ku bakaire ba Isiraeri ne baiza okubuulya Mukama ne batyama mu maiso gange. 2 Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 3 Mwana w'o muntu, tumula n'abakaire ba Isiraeri obabobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Mwize okumbuulya? Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, tinabuulibwe imwe. 4 Wabasalira, omwana w'omuntu, wabasalira omusango? Bamanyisye emizizyo gya bazeiza baabwe; 5 obakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ku lunaku lwe nerobozerye Isiraeri ne nyimusya omukono gwange eri eizaire ery'enyumba ya Yakobo, ni neemanyisya eri ibo mu nsi y'e Misiri, bwe nayimusirye omukono gwange eri ibo, nga ntumula nti ninze Mukama Katonda wanyu; 6 ku lunaku olwo nayimusirye omukono gwange eri ibo okubatoola mu nsi y'e Misiri, okubayingirya mu nsi gye nabbaire mbaketeire, ekulukuta amata n'omujenene gw'enjoki, niikyo ekitiibwa ky'ensi gyonagyona: 7 ni mbakoba nti Musuule buli muntu emizizyo egy'amaiso ge, so temweyonoonesyanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; ne Mukama Katonda wanyu. 8 Naye ne banjeemera ne batataka kumpulira; tebaaswire buli muntu emizizyo egy'amaiso gaabwe, so tibaalekere bifaananyi bye Misiri: kale ne ntumula okubafukaku ekiruyi kyange, okutuukirirya obusungu bwange ku ibo wakati mu nsi y'e Misiri. 9 Naye nakola olw'eriina lyange lireke okuvumisibwa mu maiso g'a mawanga, mwe babbaire, ba neetegerezerye mu maiso gaabwe gye babbaire, nga mbatoola mu nsi y'e Misiri. 10 Awo ne mbatambulya okuva mu nsi y'e Misiri, ni mbaleeta mu idungu. 11 Awo ni mbawa amateeka gange ni mbalaga emisango gyange, omuntu bw'akola egyo alibba mulamu mu igyo. 12 Era ate ni mbawa sabbiiti gyange, okubba akabonero wakati wange nabo, kaisi bamanye nga ninze Mukama abatukulya. 13 Naye enyumba ya Isiraeri ni banjeemera mu idungu: tibaatambuliranga mu mateeka gange, ni bagaana emisango gyange, omuntu bw'akola egyo alibba mulamu mu igyo; n'o sabbiiti gyange ne bagyoonoona inu; kale ne ntumula okubafukiraku ekiruyi kyange mu idungu okubamalawo. 14 Naye ni nkola olw'eriina lyange lireke okuvumisibwa mu maiso g'a mawanga be nabatoleire mu maiso gabwe. 15 Era ate ne mbayimusirya omukono gwange mu idungu nga tinjaba kubaleeta mu nsi gye nabbaire mbawaire, ekulukuta amata n'omujenene gw'enjoki, niikyo ekitiibwa ky'ensi gyonagyona; 16 kubanga bagaine emisango gyange ni batatambuliranga mu mateeka gange ni boonoonanga sabbiiti gyange: kubanga omwoyo gwabwe gwasengereryanga ebifaananyi byabwe. 17 Era naye eriiso lyange ni libasonyiwa okuzikirizibwa, so tinabamaliirewo dala mu idungu. 18 Awo ni nkobera abaana baabwe mu idungu nti timutambuliranga mu mateeka ga bazeiza banyu so temwekuumanga misango gyabwe so temweyonoonesya n'ebifaananyi byabwe: 19 ninze Mukama Katonda wanyu; mutambulirenga mu mateeka gange, mukwatenga emisango gyange mugikolenga: 20 era mutukulyenga esaabbiiti gyange; era gyabbanga kabonero wakati wange naimwe, mumanye nga ninze Mukama Katonda wanyu. 21 Naye abaana ne banjeemera; tebaatambuliranga mu mateeka gange so tebaakwatanga misango gyange okugikolanga, omuntu bw'akola egyo alibba mulamu mu igyo; bayonoonanga sabbiiti gyange; kale ni ntumula okubafukiraku ekiruyi kyange okutuukirirya obusungu bwange eri ibo mu idungu. 22 Era naye ni ngirya omukono gwange ni nkola olw'eriina lyange lireke okuvumisibwa mu maiso g'amawanga be nabatooleire mu maiso gabwe. 23 Era ate ne mbayimusirya omukono gwange mu idungu nga ndibasaansaanirya mu mawanga ni mbatataaganyirya mu nsi nyingi; 24 kubanga babbaire tebatuukirirya misango gyange, naye nga bagaine amateeka gange, era nga boonoonere esabbiiti gyange, n'amaiso gaabwe gabbaire nga gasengererya ebifaananyi bya bazeiza baabwe. 25 Era ate ni mbawa amateeka agatali masa, n'emisango gye batayabire kubbamu balamu; 26 ni mbagwagwawalya olw'ebirabo byabwe ibo, kubanga babityanga mu musyo bonabona abaigulanda, kaisi mbamaleku byonabona, era bamanye nga ninze Mukama. 27 Kale, mwana w'o muntu, tumula n’e nyumba ya Isiraeri obakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti era ne mu kino bazeiza banyu mwe banvumiire, kubanga bansoberyeku ekyonoono. 28 Kubanga bwe nabbaire mbayingiirye mu nsi gye nayimusiirye omukono gwange okubawa, kale ne babona buli lusozi oluwanvu na buli musaale omuziyivu, ni baweeranga eyo saadaaka gyabwe, era eyo gye baaleeteranga ekiweebwayo kyabwe ekinyiiza, era eyo gye banyookereryanga akaloosa kaabwe, ni bafukanga ebiweebwayo byabwe eby’okunywa. 29 Awo ne mbakoba nti ekifo ekigulumivu gye mwaba amakulu gaakyo ki? Awo eriina lyakyo ne kituumibwa Bama ne watyanu. 30 Kale koba enyumba ya Isiraeri nti Ati bw'a tumula Mukama Katonda nti Mweyonooneserye ng'engeri bwe yabbaire eya bazeiza banyu? era mwenda okusengererya emizizyo gyabwe? 31 era bwe muwaayo ebirabo byanyu, bwe mubitya bataane banyu mu musyo, mweyonooneserye n'ebifaananyi byanyu byonabyona ne watyanu? kale nabuulibwe imwe, ai enyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, timbuulibwe imwe: 32 n'ekyo ekiyingira mu mwoyo gwanyu tekiribbaawo n'akadiidiiri; kubanga mutumula nti twabba ng'amawanga, ng'ebika eby'omu nsi, okuweererya emisaale n'amabbaale. 33 Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, mazima ndibba kabaka wanyu n'engalo egy'amaani n'omukono ogwagoloilwe n'ekiruyi ekifukiibwe: 34 era ndibatoola mu mawanga ne mbakuŋaanya okubatoola mu nsi mwe mwasaansaanyiziibwe, n'engalo egy'a maani n'o mukono ogugoloirwe n'e kiruyi ekifukiibwe: 35 era ndibaleeta mu idungu ery'a mawanga, era ndiwozerya eyo naimwe nga tulingagagana maiso n'a maiso. 36 Nga bwe nawozeirye na bazeiza banyu mu idungu ery'ensi y'e Misiri, ntyo bwe ndiwozya naimwe, bw'atumula Mukama Katonda. 37 Era ndibabitya wansi w'omwigo, era ndibayingirya mu busibe bw'endagaanu; 38 era ndibamaliramu dala abajeemu, n'abo abansoberye; ndibatoola mu nsi mwe batyama, naye tibaliyingira mu nsi ye Isiraeri: kale mulimanya nga ninze Mukama. 39 Mwena, Ai enyumba ya Isiraeri, ati bw'a tumula Mukama Katonda nti mwabe muweererye buli muntu ebifaananyi bye, era n'o luvanyuma, bwe mutaliikirirya kumpulira: naye eriina lyange eitukuvu timuliryonoona ate n'ebirabo byanyu n'ebifaananyi byanyu. 40 Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw'entiiko ya Isiraeri, bw'atumula Mukama Katonda, okwo enyumba yonayona eya Isiraeri, ibo bonabona, kwe balimpeerererya mu nsi; eyo gye ndibaikiririrya, era eyo gye ndibasalirira ebiweebwayo byanyu n'ebibala ebiberyeberye eby'ebitone byanyu wamu n'ebintu byanyu byonabyona ebitukuvu. 41 Ndibaikirirya ng'akaloosa, bwe ndibatoola mu mawanga ni mbakuŋaanya okubatoola mu nsi mwe mwasaasaanyiziibwe; kale nditukuzibwa mu imwe mu maiso g'a mawanga. 42 Awo mulimanya nga ninze Mukama, bwe ndibayingirya mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nayimusiirye omukono gwange okugiwa bazeiza banyu. 43 Awo muliijuukirira eyo amangira ganyu n'ebikolwa byanyu byonabyona bye mwegwagwawairye nabyo; era mulyetamwa mu maiso ganyu imwe olw'ebibbiibi byanyu byonabyona bye mwakolere. 44 Kale mulimanya nga ninze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'e riina lyange, ti ng'a mangira ganyu amabbiibi bwe gali, so ti ng'e bikolwa byanyu ebikyamu bwe biri, Ai imwe enyumba ya Isiraeri, bw'atumula Mukama Katonda. 45 Ekyigambo kya Mukama kyagya gyendi nga kigamba 46 Omwana w'omuntu, simba amaiso go obukiika obulyo, otonyesye ekigambo kyo okwolekera obukiika obulyo, olagulire ku kibira eky'enimiro ey'obukiika obulyo; 47 okobe ekibira eky'obukiika obulyo nti wulira ekigambo kya Mukama; ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndikuma omusyo mu iwe ne gwokya buli musaale ogwera oguli mu iwe na buli musaale mukalu: enimi egy'omusyo egyaka tegirizikiziibwa, n'amaiso gonagona okuva obukiika obulyo okutuuka obukiika obugooda galiya nagwo. 48 Kale bonabona abalina omubiri balibona nga ninze Mukama ngukumire: tigulirikiribwa. 49 Awo ni ntumula nti woowe, Mukama Katonda! bantumulaku nti ti mugezi we ngero?