Ensuula 19
1
Era ate tandiika okukungubagira abakungu ba Isiraeri,
2
Otumule nti mawo kyabbaire kiki? Mpologoma nkali: yagalamiranga mu mpologoma, wakati mu mpologoma entonto mwe yayonkyeirye abaana baayo.
3
N'akulirye imu ku baana baayo; n'ebba mpologoma entonto: n'eyega okukwata omuyiigo, n'erya abantu.
4
Era n'amawanga ni gagiwulira; yakwatiibwe mu biina bwabwe; ni bagireeta n'amalobo mu nsi y'e Misiri.
5
Awo enkali bwe yaboine ng'erindiriire n'e isuubi lyayo nga ligotere, kaisi n'e irira omwana gwayo ogundi, n'egufuula empologoma entonto.
6
N'etambulatambula mu mpologoma, yafuukire empologoma entonto: era yayigire okukwata omuyiggo, yaliire abantu.
7
Era yamaite amanyumba gabwe, n'ezikya ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonabyona ebyabbairemu olw'e idoboozi ery'okuwuluguma kwayo.
8
Awo amawanga ni bagirumba enjuyi gyonagyona nga geema mu masaza: ni bagisuulaku ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu biina byabwe.
9
Ne bagisiba mu ijiririryo n'amalobo, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; baagitwaire mu bigo, eidoboozi lyayo lireke okuwulirirwa ate ku nsozi gya Isiraeri.
10
Mawo yabbaire ng'omuzabbibu mu musaayi gwo, ogwasimbiibwe awali amaizi: yabbaire mugimu, yaizwire amatabi olw'amaizi amangi.
11
Era yabbaire nemiigo eminywevu okubba emiigo egy'obwakabaka egy'abo abaafuganga, n'obukulu bwabwe bwagulumiziibwe wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw'obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw'a matabi gabwe.
12
Naye yasimbuliibwe olw'ekiruyi; yasuuliibwe wansi, empunga egy'e buvaisana ne gikalya ebibala bye: emiigo gye eminywevu ni giwogokaku ni giwotoka; omusyo ni gugookya.
13
Awo atyanu asimbiibwe mu idungu, mu nsi enkalu ey'emiyonta.
14
Era omusyo guviire mu miigo egy'amatabi ge, gwokyerye ebibala bye, ni kutabba ku iye omwigo munywevu okubba omwigo ogw'o bwakabaka ogw'okufuga. Ebyo by'o kukungubaga, era biribba by'o kukungubaga.