1
Awo Fesuto bwe yatuukiire mu isaza, bwe waabitirewo enaku isatu, n'ava mu Kayisaliya n'aniina e Yerusaalemi.
2
Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamukobera Pawulo bye yaloopeibwe; ne bamwegayirira,
3
nga bataka abakole obusa ku iye, amutumire okwiza e Yerusaalemi; bamuteegere mu ngira okumwita.
4
Naye Fesuto n'airamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, naye iye mweene yabbaire ng'ali kumpi okuvaayo okwaba.
5
N'akoba nti Kale abakulu mu imwe baabe nanze, bamuvunaane oyo oba ng'aliku ekibbiibi kyonakyona.
6
Bwe yamalireyo ewaabwe enaku egitaasingawo munaana oba ikumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olw'okubiri n'atyama ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo.
7
Bwe yatuukire Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bemerera okumwetooloola, nga baleeta ebimuvunaanwa bingi era ebizibu, bye batasobola kulumirirya;
8
Pawulo n'awoza nti Tinyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya waire ku yeekaalu waire eri Kayisaali.
9
Naye Fesuto, bwe yatakire Abayudaaya okumusiima, n'aramu eri Pawulo n'akoba nti Otaka okwaba e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maiso gange?
10
Naye Pawulo n'akoba nti Nyemereire awali entebe esalirwaku emisango eya Kayisaali, we Å‹waniire okusalirwa omusango: tinyonoonanga eri Abayudaaya, era nga weena bw'otegeerera dala okusa.
11
Kale oba nga nayonoonere era nga nakolere ekigambo ekisaaniire okunzisa, tingaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, Wabula muntu asobola okumpaayo mu ibo. Njulira Kayisaali.
12
Fesuto bwe yamalire okuteesia nabo mu lukiiko kaisi nairamu nti Ojuliire Kayisaali: olyaba eri Kayisaali.
13
Awo bwe waabitirewo enaku, Agulipa kabaka no Berenike ne batuuka e Kayisaliya, ne basugirya Fesuto.
14
Bwe baamalireyo enaku nyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'akoba nti Waliwo omuntu Ferikisi gwe yalekere nga musibe:
15
bwe nabbaire mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakaire b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga bataka okumusalira omusango.
16
Ne mbairamu nti Ti mpisa ya Barooma okuwaayo omuntu abamuvunaana nga bakaali kubbaawo mu maiso ge, era nga bakaali kuweebwa ibbanga lyo kuwozya bye bamuvunaana.
17
Awo bwe baakuŋaaniire wano, tinalwiire n'akatono, naye ku lunaku olw'okubiri ne ntuula ku ntebe esalirwaku emisango ne ndagira okuleeta omusaiza oyo.
18
Bwe bayemereire abamuvunaana ne bataleeta nsonga ye bigambo bibbiibi nga bwe nabbaire ndowooza;
19
naye babbaire ku iye ebibuuzibwa mu idiini lyaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafiire, Pawulo gwe yatumwireku okubba omulamu.
20
Nzeena bwe nabulirwe bwe naakebeire ebyo, ne mubuulya ng'ataka okwaba e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino.
21
Naye Pawulo bwe yajuliirwe okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusia lwe ndimuweererya eri Kayisaali.
22
Agulipa n'akoba Fesuto nti Nanditakire nzeena okuwulira omuntu oyo. N'akoba nti Eizo olimuwulira.
23
Awo ku lunaku olw'okubiri Agulipa ne Berenike bwe baizire n'ekitiibwa ekinene era bwe bayingiire mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa.
24
Fesuto n'akoba nti Agulipa kabaka naimwe mwenamwena abali wano naife, mumubona ono, ekibiina kyonakyona eky'Abayudaaya gwe gwebegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga batumulira waigulu nti tekimugwaniire kubba mulamu ate.
25
Naye nze ne ntegeera nga takolere kigambo ekisaaniire okumwitisya: naye iye bwe yajuliire Augusito ne nsaba okumuweerelyayo.
26
Mbula kigambo ku iye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenviire muleeta we muli, era okusinga w'oli, iwe kabaka Agulipa, bwe twamala okumukemererya kaisi mbe n'ekigambo eky'okuwandiika.
27
Kubanga mbona nga kyo busiru okuweereza omusibe n'obutawulira nsonga egiri ku iye.