Ensuula 19

1 Awo olwatuukire Apolo bwe yabbaire e Kolinso, Pawulo bwe yabitiirr mu njuyi egiri waigulu n'atuuka mu Efeso n'asanga abayigirizwa abamu: 2 n'abakoba nti Mwaweweibwe Omwoyo Omutukuvu bwe mwaikiriirye? Ne bamukoba nti Bbe, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu. 3 N'akoba nti Kale mwabatiziibwe kuyingira mu ki? Ne bamukoba nti Mu kubatizibwa kwa Yokaana. 4 Pawulo n'atumula nti Yokaana yabatizire kubatiza kw'okwenenya, ng'akoba abantu baikirirye ayaba okwiza enyuma we, niiye Yesu. 5 Bwe baawuliire ne babatizibwa okuyingira mu liina lya Mukama waisu Yesu. 6 Pawulo bwe yabateekereku emikono, Omwoyo Omutukuvu n'aiza ku ibo, ne batumula enimi ne balagula. 7 Abantu bonabona babbaire nga ikumi na babiri. 8 N'ayingira mu ikuÅ‹aaniro n'atumulanga n'obuvumu okumala emyezi isatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga olw'ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda. 9 Naye abamu bwe baakakanyaire ne batawulira, nga bavumanga Engira mu maiso g'ekibiina, n'ava gye baali, n'ayawula abayigirizwa, ng'awakaniranga buli lunaku mu isomero lya Tulaano. 10 Ebyo ne bimala emyaka ibiri, ne bonabona ababbaire batyama mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waisu, Abayudaaya n'Abayonaani. 11 Katonda n'akolanga eby'amagero ebitabonebwa buli lunaku mu mikono gya Pawulo, 12 n'abalwaire ne baleeterwanga ebiremba n'engoye egy'oku mubiri gwe, endwaire ne zibavangaku, dayimooni n'abavangaku. 13 Naye era abantu Abayudaaya ababulaku waabwe, ababbingire dayimooni, ne beetulinkirirya okutumula eriina lya Mukama waisu Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bakoba nti Mbalayirya Yesu Pawulo gw'abuulira. 14 Awo wabbairewo abaana musanvu aba Sukewa Omuyudaaya kabona omukulu, abaakolere batyo. 15 Dayimooni n'airamu n'abakoba nti Yesu mutegeera no Pawulo mumaite; naye imwe niimwe baani? 16 Omuntu eyabbaire ku dayimooni n'ababuukira n'abasinga bonabona n'abayinza, n'okwiruka ne bairuka okuva mu nyumba edi nga bali bwereere nga balina ebiwundu. 17 Ekyo ne kitegeerwa bonabona Abayudaaya n'Abayonaani abaatyamanga mu Efeso; Entiisia n'ebakwata bonabona, eriina lya Mukama waisu Yesu ne ligulumizibwa. 18 Era bangi ku ibo abaikirirya ne baiza, ne batyama ne bategeeza ebikolwa byabwe. 19 Era bangi ku ibo abaakolanga eby'obufumu ne bakuŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokyerya mu maiso gaabwe bonabona: ne babala omuwendo gwabyo ne babona ebitundu bya feeza emitwalo itaan. 20 Kityo ekigambo kya Mukama waisu ne kyeyongeranga mu maani ne kiwangula. 21 Ebyo bwe byaweire, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okubitira mu Makedoni ne Akaya, n'okwaba e Yerusaalemi, ng'akoba nti Bwe ndimala okubba eyo, era kingwaniire okubona ne Rooma. 22 N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, iye mwene n'alwayo ebiseera ti bingi mu Asiya. 23 Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwanu ti katono olw'Engira. 24 Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi we feeza eyakolanga obusabo obwa feeza obwa Atemi n'afuniranga abaweesi amagoba ti matono; 25 n'akuÅ‹aanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'akoba nti Abasaiza, mumaite nti omulimu ogwo obugaiga bwaisu mwe buva; 26 mubona era muwulira nga ti mu Efeso mwonka naye nga mu Asiya yonayona Pawulo oyo asendenderesendere era akyusirye ekibiina kinene, ng'akoba nti Abakoleibwe n'emikono ti bakatonda. 27 Naye ti niife fenka tuboine akabbiibi omulimu gwaisu okunyoomebwanga, era naye n'eisabo lya Atemi katonda omukulu omukali okulowoozebwanga nga ti kintu, n'oyo n'okutoolebwa n'atoolebwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonayona n'ensi gy'onagyona. 28 Bwe baawuliire ne baizula obusungu ne batumulira waigulu nga bakoba nti Atemi w'Abaefeso mukulu. 29 Ekibuga kyonakyona ne kizula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu teyatero, bwe baamalire okukwata Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo. 30 Pawulo bwe yatakire okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamwikirirya. 31 Era abakulu abamu aba Asiya, ababbaire mikwanu gye, ne bamulingirira nga bamwegayirira aleke okwewaayo mu teyatero. 32 Abamu ne batumulira waigulu bundi, n'abandi bundi, kubanga ekibiina kyabbaire kyetabwire, so n'abandi bangi ne batategeera nsonga ebakuÅ‹aanyizirye. 33 Ne batoola Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikirirya. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ataka okwenyonyola eri abantu. 34 Naye bwe baamutegeire nga Muyudaaya, bonabona ne batumulira waigulu n'eidoboozi limu okumala ng'essaawa ibiri nti Atemi w'Abaefeso mukulu. 35 Omuwandiiki bwe yasirikirye ekibiina, n'akoba nti Abasaiza Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso niikyo kikuuma eisabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu. 36 Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwaniire imwe okwikaikana n'obutakola kintu mu kwanguyirirya. 37 Kubanga muleetere abantu bano abatanyagire by'omu isabo so era tebavoire katonda waisu omukali. 38 Kale oba nga Demeteriyo n'abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko giriwo n'abaamasaza baliwo: baloopagane. 39 Naye oba nga musagira bindi, byasalirwa mu ikuŋaaniro eribbaawo buliijo. 40 Kubanga dala tusobola okutuukwaku akabbiibi olw'akeegugungu kano aka atyanu, kubanga wabula nsonga gye tusobola okuwozia olw'okukuÅ‹aana kuno. Bwe yatumire atyo n'ayabulula ekibiina.