Ensuula 17

1 Ne Babita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sesaloniika ewabbaire eikuŋaaniro ly'Abayudaaya: 2 awo Pawulo nga bwe yabbaire empisa ye n'ayingira mu ibo, mu sabbiiti isatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa, 3 ng'abikula ng'ategeeza nti Kristo kyamugwaniire okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira niiye Kristo. 4 Abamu ku ibo ne baikirirya ne beegaita ne Pawulo no Siira; n'Abayonaani abeegenderezia ekibiina kinene n'abakyala abakulu ti batono. 5 Naye Abayudaaya bwe baakwatiibwe eiyali ne batwala abantu ababbiibi ab'omu bakopi ne bakuÅ‹aanyisia abantu ne basasamazia ekibuga. Ne bazingiza enyumba ya Yasooni ne bataka okubaleeta mu maiso g'abantu. 6 Bwe bataababoine, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu okubatwaire mu maiso g'abakulu ab'omu kibuga nga batumulira waigulu nti Bano abavuunika ensi baizire ne wano; 7 ne Yasooni yabasembezerye. Bano bonabona bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bakoba nti Waliwo kabaka ogondi, Yesu. 8 Ne basasamazia ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawuliire ebyo. 9 Bwe baamalire okweyemererya Yasooni n'abantu, ne babalekula. 10 Amangu ago ab'oluganda ne basindika obwire Pawulo ne Siira okwaba e Beroya: boona bwe baatuukire eyo ne bayingira mu ikuÅ‹aaniro ly'Abayudaaya. 11 Naye bano babbaire basa okusinga ab'e Sesalonika, kubanga baikiriirye ekigambo n'omwoyo omwangu einu, buli lunaku nga basagira mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bityo. 12 Abamu bangi kyebaaviire baikirirya, era n'abakali abakyala Abayonaani n'abasaiza ti batono. 13 Naye Abayudaaya ab'e Sesalonika bwe baategeire ng'ekigambo kya Katonda kibuuliirwe Pawulo era mu Beroya, era ne baizayo ne beesomera ebibiina ne basasamazia. 14 Awo amangu ago ab'oluganda ne basindika Pawulo okwaba okutuuka ku nyanza: Siira no Timoseewo ne babba eyo. 15 Naye abaawerekeire Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okukoba Siira ne Timoseewo baize gy'ali amangu nga bwe basoboire, ne baaba. 16 Naye Pawulo bwe yabbaire mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yaboine ekibuga nga kizwiire ebifaananyi. 17 Awo n'awakaniranga mu ikuŋaaniro n'Abayudaaya n'ababbaire batya Katonda era no mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga. 18 Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo na Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bakoba nti Ataka kutumula ki abujabujana ono? Abandi ne bakoba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abayaaka: kubanga yabbaire ng'abuulira Yesu n'okuzuukira. 19 Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bakoba nti Twasobola okutegeera okuyigiriza kuno okuyaka kw'otumula nga bwe kuli? 20 Kubanga oleeta ebigambo ebiyaaka mu matu gaisu: kyetuviire tutaka okutegeera amakulu g'ebigambo bino. 21 (Abaasene bonabona n'abageni abaabbangayo tibaakolanga kintu kindi wabula okutumulanga oba okuwuliranga ekigambo ekiyaaka.) 22 Pawulo n'ayemerera wakati wa Aleyopaago n'akoba nti Abasaiza Abaasene, mbaboine mu byonabyona nga mutya inu balubaale. 23 Kubanga bwe mbaire mbita ne ningirira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiibweku nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira. 24 Katonda eyakolere ensi n'ebirimu byonabyona, oyo kubanga niiye Mukama w'eigulu n'ensi tabba mu masabo agakolebwa n'emikono, 25 so taweerezebwa mikono gya bantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo niiye abawa bonabona obulamu n'okwikirirya omwoka ne byonabyona; 26 yakolere okuva ku mumu buli igwanga ly'abantu okutyamanga ku nsi enjuyi gyonagyona, bwe yalagiire n'ayawulamu ebiseera n'ensalo egy'okutyama kwabwe: 27 basagirenga Katonda koizi bawamante okumubona, waire nga tali wala wa buli mumu ku ife: 28 kubanga mu oyo tubba balamu, tutambula, tubbaawo; era ng'abandi ab'ewanyu abayiiya bwe bakoba nti Kubanga era tuli izaire lye. 29 Kale bwe tuli eizaire lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba feeza oba ibbaale, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu. 30 Kale Katonda ebiseera ebyo eby'obutamanya teyabiringiriranga; naye atyanu alagira abantu bonabona abali wonawona okwenenya, 31 kubanga yateekerewo olunaku lw'ayaba okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi gyonagyona mu muntu gwe yayawiremu, bwe yamalire okuwa bonabona ekikirizisia bwe yamuzuukizirye mu bafu. 32 Naye bwe baawuliire okuzuukira kw'abafu abamu ne baÅ‹oola; abandi ne bakoba nti Era tulikuwulira ate olw'ekigambo ekyo. 33 Bwe Pawulo n'abavaamu wakati. 34 Naye Abasaiza abamu ne beegaita naye ne baikirirya: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukali eriina lye Damali, n’abandi wamu nabo.