Ensuula 10
1
Wabbairewo omuntu mu Kayisaliya, eriina lye Koluneeriyo, omwami w'ekitongole ekyayetebwanga Ekitaliano,
2
omwegendereza, atya Katonda awamu n'enyumba ye yonayona, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, n'asabanga Katonda enaku gyonagyonna.
3
Oyo n'abona mu kwolesewa mu lwatu, nga mu saawa ey'omwenda ey'emisana, malayika wa Katonda ng'amuyingirira, ng'amukoba nti Koluneeriyo.
4
N'amwekaliriza amaiso n'atya n'akoba nti Kiki, Mukama wange? N'amukoba nti Okusaba kwo n'okugaba kwo bininire olw'okwijukirya mu maiso ga Katonda.
5
Era atyanu tuma abantu e Yopa, oyeteyo omuntu Simooni, eriina lye ery'okubiri Peetero:
6
oyo yakyaliibwe omuntu Simooni, omuwazi w'amawu, n'enyumba ye eriraine ku nyanja.
7
Malayika eyatumwire naye bwe yayabire, yayetere abaidu be babiri ab'omu nyumba na sirikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga buliijo:
8
bwe yamaliriire okubategeeza ebigambo byonabyona n'abatuma e Yopa.
9
Awo ku lunaku olw'okubiri, bwe babbaire nga batambula abo, nga bali kumpi okutuuka ku kibuga, Peetero n'aniina ku nyumba waigulu okusaba nga mu saawa ey'omukaaga.
10
N'alumwa enjala n'ataka okulya. Naye bwe babbaire nga baizula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa;
11
n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku birenge bina okussibwa, n'essibwa wansi:
12
omwali ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n’eby'ewalula eby’ensi, n’ennyonyi ez’omu bbanga.
13
Eddoboozi ne lijja eri ye nti Golokoka, Peetero, osale olye.
14
Naye Peetero n'agamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo newakubadde ekibi.
15
Eddoboozi nate (ne lijja) gy'ali omulundi ogw'okubiri nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo.
16
Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangu ago ekintu ne kitwalibwa mu ggulu.
17
Awo Peetero bwe yabuusabuusa munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi,
18
ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero, yakyazibwa omwo.
19
Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n'amugamba nti Laba, abantu basatu bakunoonya.
20
Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye.
21
Peetero n'akka eri abantu n'agamba nti Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese?
22
Ne bagamba nti Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe.
23
Awo n'abayingiza n'abaaniriza. Awo ku lunaku olw'okubiri Peetero n’agolokoka n'asitula wamu nabo, n'ab'oluganda abamu ab'omu Yopa ne bagenda naye.
24
Awo ku lunaku olw'okubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng'abalindirira ng'akuŋŋaanyizza ab'ekika kye n'abaali mikwano gye ennyo.
25
Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira Koluneeriyo n'amusisinkana, n'amufukaamirira ku bigere n’asinza.
26
Naye Peetero n'amuyimusa ng'agamba nti Yimirira; nange ndi muntu buntu.
27
Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye,
28
n'abagamba nti Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita amuntu yenna ow'omuzizo oba omubi.
29
Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyeava mbuuza nti Kiki ekimpisizza?
30
Awo Koluneeriyo n’agamba nti Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimamasa,
31
n'agamba nti Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda.
32
Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n’annyanja.
33
Awo amangu ago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.
34
Awo Peetero n'ayasamya akamwa ke n'agamba nti Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu:
35
naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza.
36
Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng'abuulirira emirembe mu Yesu Kristo (ye Mukama w'ebintu byonna)-
37
mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw'okubatiza kwe yabuulira Yokaana,
38
Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye.
39
Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti.
40
Oyo Katonda n'amuzuukiriza ku lunaku olw'okusatu n'amulaga mu lwatu,
41
si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu.
42
N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango gw'abalamu n'abafu.
43
Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.
44
Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo.
45
Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku mawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa.
46
Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'addamu nti
47
Omuntu ayinza okugaana amazzi bano obutabatizibwa, bano abaweereddwa Omwoyo Omutukuvu nga ffe?
48
N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamwegayirira okumalayo ennaku nnyingiko.