Esuura 3
1
Kale oba nga mwayimbokere amwe ne kulisiko, muswagane ebiri muigulu, Kristo ayikaale kumukono oguliyo ogwa Kanca.
2
. Mulowoozenge kubyamuyiguru, soti ebiri kunsi.
3
. Kubbanga mwafiire, n'obwomi bwanywe bwakwekere amwe ne Kristo mu Kanca.
4
. Kristo, obwomi bwaiswe, bw'abonekerwe, era nanywe nemusobola okubonekerwa amwe naye mu
5
. Kale mwefirize ebyensi omunywe; obwensi, obugwagwa, okwegomba kwe nsoni, akooro n'okuyayana nikwo okusinza ebifwananyi.
6
. Kulwebyo obusungu bwa Kanca busamukira kubaana abatawuura.
7
. era nanywe mw'ebyo nimwo mwatambuliranga eirai, ni mwabikolanga ebyo.
8
. Naye ati, era nanywe mukolewo byonna byonna, obukambwe, ekiruyi, eittima, okuzuma, era n'okunyunya eby'ansoni mumunwa
9
. Timubeyegananga nyenkai na nyenkai; kubbanga mwamweyambwireku omuntu awaira amwe n'ebikolwa by'amwe.
10
. Nimuzwala omuntu omuyaka, aindurwa okubba omuyaka olw'okumanya mu kifwanyi ky'oyo eya mutondere.
11
. Awo wabbanga tiwa caliwo kwawula, muyonaani na muyudaaya, eyarairiirwe n'atatairirwe, omunamawanga n'omusukusi, omwiru n'oweiddembe, naye Kristo niye bintu byonna era ali mu byonna
12
. Kale muzwale ng'abulonde bu Kanca abaikiiriirye era abamukwano, omwoyo gweisaasi, obusai, okwewombeka obutebenkeri, okuguminkirizai.
13
. Nga muzibikiryangana, era nga musonyiwagananga mwenkai na mwenkai, omuntu yenne yenna bwabanga nensonga kumuntu omuyiramwei era nga omukama waiswe bweyabasonyiwire nywe, era n'anywe musonyiwanganenga.
14
. Ku ebyo byonna byonna era mwazwareku okwendyagana, kubbanga nikwo kugumya ebintu byonna
15
. Era emirembe gya Kanca ziramulenge mu mitima gy'anywe, era gye mwaiterwe mu mubiri ogumwei era mubenga n'okwebalya.
16
. Naye ekigambo kya Kristo kibenge mu nywe n'obugaigai mu kumanya kwonna kwonna nga musomesagananga era nga mulabulagananga nyenkai na mwenkai mu zabuli n'enyembo, ebiyiye eby'omwoyo, nga mwebalya OKanca mumitima gy'anywe.
17
. Era buli, kyemuna kolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenge byonna byonna mwiibara ly'omukama waiswe Yesu, nga mwebalya Kanca otaiswe nga mwakara mu
18
. Abakali, muwurenge abamibanywe nga nikiri ekisai mu mukama waiswe.
19
. Abasaiza mwendye nye abakali banywe, so timubasunguwalanga.
20
. Abaana, muwurenga ababyare bamye mu byonna byonna, kubbanga ekyo kisemerya omukama.
21
. Baitabwe, timusunguwalyanga baana b'anywe, balemenga okwirira mu
22
. Abairu, muwurenge bakama b'anywe abomunsi mu byonna byonna, tikubasemerya kubanga babonere, naye mubagonderenga n'omutima ogutalumu bukulupya, nga mutina omukama waiswe.
23
. Buli ce mukoola mukikolenga n'omutima gw'anywe gwonna gwonna, ng'abakolera omukama waiswe, so ti abantui.
24
. Nga mumaite nga mulisasulwa omukama waiswe empera eyobusika, omuwereza omukama waiswe Yesu Kristo.
25
. Kubanga eyasisire alisasulwa nkabwe yasisire, so ti walibba kusalirya. 4