1
Awo Balamu bwe yaboine nga Mukama asiimire okuwa Isiraeri omukisa, n'a tayaba, ng'o lundi, okusagira eirogo, naye n'a yolekerya amaiso ge olukoola.
2
Balamu n'a yimusya amaiso ge, n'a bona Isiraeri nga batyaime ng'e bika byabwe bwe byabbaire; omwoyo gwa Katonda ni gumwizaku.
3
N'a gera olugero lwe, n'a tumula nti Balamu, mutaane wa Byoli, atumula, Era omusaiza eyaizibwa amaiso atumula
4
Atumula oyo awulira ebigambo bya Katonda, Abona okwolesebwa kw'Omuyinza w'e bintu byonabyona, ng'a gwa wansi, n’a maiso ge nga gamoga
5
Nti ewema gyo nga nsa, iwe Yakobo, enyumba gyo, iwe Isiraeri!
6
Gyeyaliriire ng'e biwonvu, Ng'e nsuku egiri ku lubalama lw'o mwiga, ng'e misaale egy'o musita Mukama gye yasimbire, ng'e misaale emyereri egiri ku lubalama lw'a maizi.
7
Amaizi gakulukutanga okuva mu nsuwa gye. N'e nsigo gye gyabbanga awali amaizi amangi, n'o kabaka we yasinganga Agagi obugulumivu, n'o bwakabaka bwe bwagulumizibwanga.
8
Katonda amutoola mu Misiri; Alina amaani ng'a g'e mbogo. Aliriira dala amawanga abalabe be, Era alimenyamenya amagumba gabwe, n'a bakubba okubasumita n'o busaale bwe.
9
Yabwamire, yagalamiire ng'e mpologoma enume, Era ng'e mpologoma enkali; yani eyamusagula? Aweebwenga omukisa buli eyakusabiranga omukisa, Era alaamibwenga buli eyakulaamanga.
10
Awo obusungu bwa Balaki ni bubuubuukira Balamu, n'a kubba mu ngalo Balaki n'a koba Balamu nti nakweta okulaama abalabe bange, era, bona, obasabiriire dala omukisa emirundi gino gyonsatu.
11
Kale iruka oireyo ewuwo mbaire ntaka okukukulya obbe n'e kitiibwa kingi inu; naye, bona, Mukama akuziyizirye okubba n'e kitiibwa.
12
Balamu n'a koba Balaki nti Era ti nakobere n'a babaka bo be wantumiire
13
nti Balaki bw'a litaka okumpa enyumba ye ng'e izwire efeeza n'e zaabu, tinsobola kubita ku kigambo kya Mukama, okukola ebisa waire ebibiibi, nga nyema mu magezi gange nze; Mukama ky'e yatumula nanze kye natumula?
14
Era Atyanu, bona, njaba eri abantu bange iza nkutegeeze abantu bano bye balikola abantu bo mu naku egy'o luvanyuma.
15
N'a gera olugero lwe, n'a tumula nti Balamu mutaane wa Byoli atumula, Era omusaiza eyairibwe amaiso atumula
16
Oyo atumula awulira ebigambo bya Katonda. Era amaite okumanya kw'oyo ali waigulu einu, Abona okwolesebwa kw'Omuyinza w'e bintu byonabyona, Ng'a gwa wansi, n'a maiso ge nga gamoga
17
Nti mubona, naye ti atyanu mulingirira, naye tandi kumpi muliva emunyenye mu Yakobo, n'o mwigo ogw'o bwakabaka guliyimuka mu Isiraeri, gulikubbira dala ensonda gya Mowaabu, gulimenyera dala abaana bonabona ab'o luyoogaano.
18
Kale Edomu alibba butaka, Era ne Seyiri alibba butaka, ababbaire abalabe be; Isiraeri ng'akola eby'o buzira.
19
Era muliva mu Yakobo omumu alibba n'o kufuga, Alizikirirya abalifiikawo mu kibuga.
20
N'a lingirira Amaleki, n'a gera olugero lwe n'a tumula nti Amaleki yabbaire w'o luberyeberye mu mawanga; Naye enkomerero ye ey'o luvanyuma erituuka mu kuzikirira.
21
N'a lingiriire Omukeeni, n'a gera olugero lwe n'a tumula nti ekifo kyo eky'o kutyama kya maani, n'e kisu kyo kyatekeibwe ku lwazi.
22
Naye Kayini alinyagibwa, okutuusya Asuli lw'a likutwala mu busibe.
23
N'a gera olugero lwe, n'a tumula nti gitusangire, yani alibba omulamu Katonda bw'a likola kino?
24
Naye ebyombo biriva ku itale ly'e Kitimu, Biribonererya Asuli, biribonererya n'e Eberi, Era yena alituuka mu kuzikirira.
25
Balamu n'a golokoka, n'a yaba n'a irayo mu kifo kye n'o Balaki n'a irayo. Ensuula