1
Awo olwatuukire Yerusaalemi bwe kyamenyeibwe, (mu mwaka ogw'omwenda ogwa Zedekiya kabaka we Yuda mu mwezi ogw'eikumi Nebukaduneeza kabaka w'e Babulooni mwe yaiziire n'eigye lye lyonalyona okutabaala Yerusaalemi n'akizingizya;
2
mu mwaka ogw'eikumi n'ogumu ogwa Zedekiya mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'omwenda mwe bawaguliire ekituli mu kibuga:)
3
abakungu bonabona aba kabaka w’e Babulooni ne bayingira ne batyama mu mulyango ogwa wakati, Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonabona abandi aba kabaka w'e Babulooni.
4
Awo olwatuukire Zedekiya kabaka we Yuda n'abasaiza bonabona abalwani bwe baboine, kale ne bairuka ne bava mu kibuga bwire mu ngira ey'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati we babugwe ababiri: n'afuluma mu ngira eya Alaba.
5
Naye eigye ery'Abakaludaaya ne libasengererya ne babitirya Zedekiya mu nsenyu egy'e Yeriko: awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukaduneeza kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango.
6
Awo kabaka w'e Babulooni n'aitira bataane ba Zedekiya e Libula iye ng'abona: era kabaka w’e Babulooni n'aita n'abakungu bonabona aba Yuda.
7
Era n'atoolamu Zedekiya amaiso, n'amusiba n'amasamba okumutwala e Babulooni.
8
Abakaludaaya ne bookya enyumba ya kabaka n'enyumba egy'abantu omusyo, ne bamenyaamenya bugwe wa Yerusaalemi.
9
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babulooni nga basibe abantu abafiikirewo ababbaire basigaire mu kibuga, era n'abasenze abaamusengere, n'abantu abafiikireewo ababbaire basigairewo.
10
Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku baavu ab'omu bantu ababbaire babula kintu mu nsi ye Yuda, n'abawa ensuku egy'emizabbibu n'enimiro mu biseera ebyo.
11
Awo Nebukaduleeza kabaka w'e Babulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebya Yeremiya ng'atumula nti
12
Mutwale omukuume inu, so tomukola kabbiibi; naye omukolanga era nga iye bw'ayakukobanga.
13
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atuma, ne Nebusazubaani, Labusalisi, n'o Nerugalusalezeeri, Labumagi, n'abaami bonabona abakulu aba kabaka w'e Babulooni;
14
ne batuma ne batoola Yeremiya mu luya olw'abambowa ne bamukwatisya Gedaliya mutaane wa Akikamu mutaane wa Safani amutwale eika: awo n'abba mu bantu.
15
Awo ekigambo kya Mukama ne kiizira Yeremiya bwe yabbaire ng'asibiibwe mu luya olw'abambowa; nga kitumula nti
16
Yaba okobe Ebedumereki Omuwesiyopya nti Ati bw'atumula Mukama w'eigye, Katonda wa Isirarei nti bona; ndireeta ebigambo byange ku kibuga kino olw'obubbiibi so ti lwo busa; era birituukirizibwa mu maiso go ku lunaku ludi.
17
Naye ndikuwonyerya ku lunaku ludi, bw'atumula Mukama: so toliweebwayo mu mukono gw'abasaiza b'otya.
18
Kubanga tindireka kukulokola so toligwa n'ekitala, naye obulamu bwo bulibba munyago gy'oli: kubanga weesigire nze, bw'atumula Mukama.