Okuva Ensuula 25
1
Mukama n'akoba Musa nti
2
Bakobere abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omwoyo gwe gutakirya mulitwala ekiweebwayo kyange.
3
Kino niikyo kiweebwayo kye mulibatwalaku: zaabu, n'efeeza, n'ekikomo;
4
n'olugoye lwa kaniki, n'olw'efulungu, n'olumyofu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuli;
5
n'amawu g'entama amainike amamyofu, n'amawu g'entukulu, n'omusaale gwa sita;
6
amafuta g'etabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookerya;
7
Amabbaale aga onuku, n'amabbaale ag'okutona, okubba ku kanzo no ku ky'omu kifubba.
8
Era Bankolere awatukuvu; kaisi ntyame wakati waabwe.
9
Nga byonabyona bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonabyona, mutyo bwe mulikola.
10
Era balikola esanduuku ey'omusaale gwa sita: emikono ibiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
11
Era oligibikaku zaabu ensa, munda no kungulu oligibikaku, era olikola ku iyo engule eya zaabu okwetooloola.
12
Era oligifumbira empeta ina egya zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta ibbiri giribba ku lumpete lumu, n'empeta eibbiri giribba ku lumpete olw'okubiri.
13
Era olikola emisituliro egy'omusaale gwa sita, oligibikkaku zaabu.
14
Era oligiyingirya emisituliro mu mpeta ku mpete egy'esanduuku, esituli bwenga n'egyo.
15
Emisituliro giribba mu mpeta egy'esanduuku: tegitolebwangamu.
16
Era oliteeka mu sanduuku obujulizi bwe ndikuwa.
17
Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ensa: emikono ibiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo.
18
Era olikola ba kerubi babiri abe zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda ibiri egy'entebe ey'okusaasira.
19
Era kola kerubi mumi ku nsonda eyo, no kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: be zaabu imu n'entebe ey'okusaasira mulikola bakerubi babiri ku nsonda gyayo eibiri.
20
Era bakerubi baligolola ebiwawa byabwe waigulu, nga bayanjaalya ku ntebe ey'okusaasira ebiwawa byabwe, nga babonagana amaiso gaabwe; amaiso ga bakerubi galiringirira entebe ey'okusaasira.
21
Era oliteeka entebe ey'okusaasira waigulu ku sanduuku; era mu sanduuku mw'oliteeka obujulizi bwe ndikuwa.
22
Era okwo kwe nabonaganiranga naiwe, nzena nalogyanga naiwe okwema waigulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku sanduuku ey'obujulizi, ku byonabyona bye naakuIagiranga eri abaana ba Isiraeri.
23
Era olikola emeenza ey'omusaale gwa sita: emikono ibiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
24
Era oligibiikaku zaabu ensa, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola.
25
Era oligikolaku olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolaku olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.
26
Era oligikolera empeta ina egya zaabu, n'ogiteeka empeta ku nsonda eina egiri ku magulu gaayo ana.
27
Kumpi n'olukugiro we giribba empeta, gibbe ebifo by'emisituliro egy'okusitulaa emeenza.
28
Era olikola emisituliro n'omusaale gwa sita, era oligibikaku zaabu, emeenza esitulibwenga n'egyo.
29
Era olikola esaani gyayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa gyayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ensa olibikola.
30
Era oliwaayo ku meenza emigaati egy'okulaga mu maiso gange buliijo.
31
Era olikola ekikondo ne zaabu ensa: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribba bye zaabu eimu nakyo:
32
n'amatabi mukaaga galiva mu mpete gyakyo; amatabi amasatu ag'ekikondo mu lumpete lwakyo lumu, n'amatabi masatu ag'ekikondo mu lumpete lwakyo olw'okubiri:
33
ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu itabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu itabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo;
34
no mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo:
35
n'omutwe gubbe wansi w'amatabi mabiri aga zaabu eimu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi amabiri aga zaabu eimu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo.
36
Emitwe gyago n'amatabi gaago biribba bye zaabu emu nakyo: kyonakyona kiribba ekyaweeseibwe ekye zaabu ensa ekimu.
37
Era olikola eby'etabaaza byakyo, omusanvu: era bakoleeryanga eby'etabaaza byakyo, okwakira mu maiso gaakyo.
38
Ne makaasi waakyo, ne saani gyakyo egy'ebisiriirya, biribba bye zaabu ensa.
39
Ne talanta eya zaabu ensa bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonabyona.
40
Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagiibwe ku lusozi.