Okuva Ensuula 26

1 Era olikola eweema n'emitanda ikumi; ne bafuta erangiirwe, ne kaniki, n'olugoye olw'efulungu, n'olumyofu, na bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oligikola. 2 Obuwanvu bwa buli mutanda bulibba emikono abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonagyona giribba gye kigero kimu. 3 Emitanda etaanu girigaitibwa gyonka na gyonka; n'emitanda itaanu girigaitibwa gyonka na gyonka. 4 Era olikola eŋangu egya kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigaite; era otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mbali g'emigaite egy'okubiri. 5 Olikola eŋangu ataanu ku mutanda gumu, era olikola eŋangu ataanu ku lukugiro lw'omutaada ogw'omu migaite egy'okubiri; eŋangu giribonagana gyonka na zonka. 6 Era olikola ebikwaso ataanu ebye zaabu, ogaite emitanda gyonka na gyonka n'ebikwaso: eweema eribba imu. 7 Era olikola emitanda egy'ebyoya by'embuli okubba eweema ku weema: oligikola emitanda ikumi na gumu. 8 Obuwanvu bwa buli mutanda bulibba emikono asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda ikumi na gumu giribba gye kigero kimu. 9 Era oligaita emitanda itaanu gyonka, n'emitanda omukaaga gyonka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maiso g'eweema. 10 Era olikola eŋangu itaanu ku lukugiro lw'omutanda gumu ogw'oku mbali g'emigaite, n'eŋangu ataanu ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mbali g'emigaite egy'okubiri. 11 Era olikola ebikwaso ataanu eby'ebikomo, oliteekamu ebikwaso mu ŋangu, oligaita eweema, ebbe imu. 12 N'ekitundu eky'emitanda gy'eweema ekifiikawo ekireebeeta, ekitundu kimu eky'omutanda ekifiikawo, kirireebeeta ku mabega g'eweema. 13 N'omukono ogw'okuluuyi luno, n'omukono ogw'oku luuyi ludi, ogufiikawo mu buwanvu bw'emitanda gy'eweema, gulireebeeta ku mpete gy"eweema eruuyi n'eruuyi, okugibiika. 14 Era olikola ku weema n'amawu g'entama enume amainike amamyofu, no kungulu ekyokugibiikaku eky'amawu g'entukulu. 15 Era olikola embaawo egy'eweema egy'omusaale gwa sita, gyemerere. 16 Emikono ikumi bwe bulibbeerera obuwanwu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibbeera obugazi bwa buli lubaawo. 17 Mu buli lubaawo mulibba enimi ibiri, egigaitibwa gyonka na gyonka: otyo bw'olikola ku mbaawo gyonagyona egy'eweema. 18 Era olikola embaawo egy'eweema, embaawo amakumi abiri egy'oluuyi lw'obukiika obulyo mu bukiika obulyo. 19 Era olikola ebiina ebya feeza ana wansi w'embaawo abiri; ebiina bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'enimi gyalwo eibiri, n'ebiina bibiri wansi w'olubaawo olundi eby'enimi gyalwo eibiri: 20 era egy'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi lw'obukiika obugooda, embaawo abiri: 21 n'ebiina byagyo ebye feeza ana; ebiina bibiri wansi w'olubaawo lumu; n'ebiina bibiri wansi w'olubaawo olundi. 22 N'egy'oluuyi lw'eweema olw'enyuma mu bugwaisana, olikola embaawo mukaaga. 23 Era olikola embaawo ibiri egy'ensonda egy'eweema ku luuyi olw'enyuma. 24 Giiribba ibiri ibiri wansi, bwe gityo bwe giribba enamba waigulu wagyo okutuuka empeta eimu: bwe gityo bwe giribba gyombiri; giribba egy'ensonda ibiri. 25 Era walibba embaawo munaana, n'ebiina byagyo ebye feeza, ebiina ikumi na mukaaga; ebiina ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebiina bibiri wansi w'olubaawo olundi. 26 Era olikola emisaale egy'omusaale gwe sita; itaano egy'embaawo egy'oluuyi olumu olw'eweema, 27 n'emisaale itaanu egy'embaawo egy'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, n'emisaale itaano egy'embaawo egy'oluuyi olw'eweema, ku luuyi olw'enyuma, olw'ebugwaisana. 28 N'omusaale ogwa wakati w'embaawo gubitemu eruuyi n'eruuyi. 29 N'embaawo oligibiikaku zaabu, era olikola empeta gyagyo gye zaabu omwokugisira emisaale: n'emisaale oligibiikaku zaabu. 30 Era olizimba eweema mu ngeri yaayo gye walagiibwe ku lusozi. 31 Era olikola eijiji erya kaniki, n'ery'olugoye olw'efulungu, n'ery'olumyofu, n'erya bafuta ensa erangiibwe: na bakerubi omulimu ogw'abakozi ab'amagezi bwe lirikolebwa: 32 era oliriwanika ku mpagi ina egy'omusaale gwa sita egibiikiibweku zaabu, ebikwaso byagyo biribba bye zaabu, ku biina bina ebye feeza. 33 Era oliwanika eijiji wansi w'ebikwaso, n'esanduuku ey'obujulizi oligiyingirya edi munda w'eijiji: n'eijiji liryawulamu eri imwe awatukuvu n'awasinga obutukuvu. 34 Era oliteeka entebe ey'okusaasira ku sanduuku ey'obujulizi mu wasinga obutukuvu. 35 N'emeeza oligiteeka ewanza w'eijiji, n'ekikondo mu maiso g'emeenza ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obulyo: n'emeenza oligiteeka ku luuyi olw'obukiika obugooda. 36 Era olikola olwigi olw'omulyango ogw'eweema, olwe kaniki, n'olw'efulungu, n'olumyofu, ne bafuta erangiibwe, omulimu ogw'omudaliza. 37 Era olikola empagi itaanu ez'omusaale gwa sita egy'olwigi, oligibiikaku zaabu; ebikwaso byagyo biribba bye zaabu: era oligifumbira ebiina bitaanu eby'ekikomo.