Okuva Ensuula 15

1 Musa n'abaana ba Isiraeri kaisi ne bembera Mukama olwembo luno ne batumula nti Ndimwembera Mukama, kubanga yawanguliire dala: Embalaasi n'omwebagali waayo yabiswire mu nyanga. 2 Mukama niigo maani gange, era niilwo lwembo lwange, Anfuukiire obulokozi bwange: Ono niiye Katonda wange, nzena ndimutendereza; Niiye Katonda wa itawange, nzena ndimugulumizya. 3 Mukama niiye muzira okulwana: Mukama niilyo eriina lye, 4 Amagaali ga Falaawo n'eigye lye yabiswire mu nyanza: N'abakungu be be yalondere basaaniewo mu Nyanza Emyofu. 5 Obuliba bubasaanikiire: Baikire mu buliba ng'eibbale. 6 Omukono gwo omulyo, Mukama, gulina ekitiibwa mu maani, Omukono gwo omulyo, Mukama, gubbetenta omulabe. 7 Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba: Otuma obusuugu bwo, ne bubasiriirya ng'ebisasiro. 8 Era n'omwoka ogw'omu nyindo gyo amaizi ganiinisibwa. Ebitaba ne beemerera entuum; Obuliba ne bukwata mu mwoyo ogw'enyanza. 9 Omulabe n'atumula nti Nasengererya, naatuuka, naagereka omunyago: Okwegomba kwange kwaikutibwa ku ibo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikirirya. 10 Wakuntirye omuyaga gwo, enyanza n'ebasaanikira: Basaanirewo nga lisasi mu maizi ag'amaani. 11 Yani afaanana nga iwe, Mukama, mu bakatonda? Yani afaanana nga iwe alina ekitiibwa mu butukuvu, Ow'entiisya mu kutenderezebwa, akola amagero? 12 Wagoloire omukono gwo omulyo, Ensi n'ebamira. 13 Iwe mu kisa kyo wabatangiire abantu be wanunwire: N'obaleeta mu maani go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu. 14 Amawanga gawuliire, ne gatengera: Emitwaalo gyabakwaite abatyama mu Bufirisuuti. 15 Abakungu ab'omu Edomu kaisi ne beewuunya; Ab'amaani ab'omu Mowaabu, okukankana kubakwata: Abatyama mu Bukanani bonabona bayenjebuka. 16 Okutekemuka n'entiisya bibagwireku; Mu bukulu obw'omukono gwo batyaime ng'eibbale; Okutuusya abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusya abantu lwe balisomoka be wefunira. 17 Olibayingirya, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo, Ekifo kye weerongooseirye, Mukama, okutyama omwo, Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanywezerye. 18 Mukama alifuga emirembe n'emirembe. 19 Kubanga embalaasi gya Falaawo ne giyingira wamu n'amagaali ge n'abeebagala mu nyanza, Mukama n'airyawo amaizi ag'omu nyanza ku ibo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nyanza. 20 Miryamu, nabbi, mwanyoko Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakali bonabona ne bafuluma ne bamusengererya nga balina ensaasi nga bakina. 21 Miryamu n'abairamu nti Mumwembere Mukama, kubanga yawanguliire dala; Embalaasi n'omwebagali waayo yabiswire mu nyanza. 22 Musa n'atambulya Isiraeri okuva ku Nyanza Emyufu, ne bavaamu ne batuuka mu idungu lya Suuli; ne baaba enaku isatu mu idungu ne batabona maizi. 23 Bwe baatuukire e Mala, ne batasonola kunywa ku maizi ge Mala, kubanga gabbaire gakaawa : kyekyaviire kyetebwa eriina lyakyo Mala. 24 Abantu ne bamwemulugunyilya Musa, nga batumula nti Twanywa ki? 25 N'akungira Mukama; Mukama n'amulaga omusaale, n'agusuula mu maizi, amaizi ne gafuuka amasa. Awo we yabalagiriire eiteeka n'e mpisa, n'abakemera awo; 26 n'atumula nti Oba nga oliwulira inu eidoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maiso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonabyona, tindikuteekaku iwe endwaire gyanagyona gye nateekere ku Bamisiri: kubanga niinze Mukama akuwonya. 27 Ne batuuka Erimu, awali ensulo gy'amaizi eikumi n'eibiri, n'enkindu ensanvu: ne bagona awo awali amaizi.