Ensuula 33

1 Era guno niigwo mukisa Musa omusaiza wa Katonda gwe yasabiire abaana ba Isiraeri nga akaali kufa. 2 N'atumula nti Mukama yaviire ku Sinaayi, Era yabagolokokeire ng'ava ku Seyiri; Yamasamasire okuva ku lusozi Palani, N'ava eri obukumi bw'a batukuvu: Ku mukono gwe omulyo kwabbaire ku amateeka ag'o musyo gye bali: 3 Niiwo awo, ataka amawanga; Abatukuvu be bonabona bali mu mukono gwo. Ne batyama ku bigere byo; Buli muntu aliweebwa ku bigambo byo. 4 Musa yatulagiire amateeka, Obusika obw'e kibiina kya Yakobo. 5 Era yabbaire kabaka mu Yesuluni. Emitwe gy'a bantu bwe baakuŋaanyiziibwe, ebika byonabyona ebya Isiraeri wamu: 6 Lewubeeni abbenga omulamu, alekenga okufa; Naye abasaiza be babbenga batono: 7 Era guno niigwo mukisa gwa Yuda: n'a tumula nti wulira Mukama, eidoboozi lya Yuda, Omuyingirye eri abantu be: N'e mikono gye yeerwanirira; Era wabbanga mubeeri eri abalabe be. 8 N'o ku Leevi n'a tumula nti Sumimu wo ne Ulimu wo biri n'o musaiza wo atya Katonda, Iwe wakemeire e Masa, iwe wa wakaine naye ku maizi ag'e Meriba; 9 Eyatumwire ku itaaye n'o ku maye nti ti muboine; so teyaikiriirye bagande be, So teyamaite baana be iye: Kubanga bakwaite ekigambo kyo, Era beekuuma endagaanu yo. 10 Bayegeresyanga Yakobo emisango gyo, n'e Isiraeri bamwegeresyanga amateeka go: Bateekanga eby'o kwoterya mu maiso go, n'e kiweebwayo ekyokyebwa ekiramba ku kyoto kyo. 11 Ebintu bye, Mukama, abiwenga omukisa, Oikirirye omulimu gw'e mikono gye: osumitire dala enkende yabwe abaamugolokokerangaku, n'abo abamukyawa balekenga okugolokoka ate. 12 Ku Benyamini n'a tumula nti omutakibwa wa Mukama yatyamanga mirembe awali iye; Amubiikaku okuzibya obwire, Era atyama wakati w'e bibega bye 13 N'o ku Yusufu n'a tumula nti ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'e by'o muwendo omungi eby'o mu igulu, olw'o musulo, n'o lw'e nyanza egalamira wansi, 14 N'o lw'e by'o muwendo omungi eby'e bibala by'e isana. N'o lw'e by'o muwendo omungi ebiva mu kukula kw'e myezi, 15 N'o lw'e bikulu eby'e nsozi egy'e ira, N'o lw'e by'o muwendo omungi eby'e nsozi egitawaawo. 16 N'o lw'e by'o muwendo omungi eby'e nsi n'o kwizula kwayo, N'e kisa ky'oyo eyatyaime mu kisaka: Omukisa gwize ku mutwe gwa Yusufu, N'o ku bwezinge bw'o mutwe gw'oyo eyayawuliibwe na bagande be. 17 Niiyo ente ye emberyeberye, obukulu niibwo bubwe; N'a maziga ge, maziga ge mbogo: Aligasindikisya amawanga gonagona, enkomerero gy'e nsi: Era niigyo Emitwaalo gya Efulayimu, Era niigyo enkumi gya Manase. 18 N'o ku Zebbulooni n'a tumula nti Sanyuka, Zebbulooni; mu kufuluma kwo, weena, Isakaali, mu weema gyo. 19 Balyeta amawanga eri olusozi; Baweeranga eyo Sadaaka egy'o butuukirivu: Kubanga balinuuna okwizula kw'e nyanza, N'o bugaiga obugise obw'o mu musenyu. 20 No ku Gaadi n'a tumwire nti aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi; Atyama ng'e mpologoma enkali, N'a taagula omukono; era obwezinge bw'o mutwe. 21 Ni yeegisira omugabo ogw'o luberyeberye, Kubanga, eyo ekitundu eky'o mugabi w'a mateeka, kyagisiibwe; n'a iza awamu n'e mitwe gy'a bantu, yakolere eby'o butuukirivu, ebya Mukama, n'e misango gye eri Isiraeri. 22 Ne ku Daani n'a tumula nti Daani mwana we mpologoma, Abuuka okuva mu Basani. 23 N'o ku Nafutaali n'a tumula nti iwe Nafutaali, aikutire obuganzi, aizwire omukisa gwa Mukama: iwe lya ebugwaisana n'o bukiika obulyo. 24 Ne ku Aseri n'a tumula nti Aseri aweebwe omukisa gw'a baana; asiimibwenga bagande be. Era ainikenga ekigere kye mu mafuta 25 Ebisiba byo byabbanga kyoma n'o lukomo; Era ng'e naku gyo, amaani go bwe gabbanga gatyo. 26 Wabula eyafaanana Katonda, iwe Yesuluni, Eyeebagala ku eigulu olw'o kukubbeera, Era ku ibbanga mu bukulu bwe obusinga: 27 Katonda atawaawo niikyo ekifo ky'o tyamamu, Era emikono egitawaawo gikuwanirira: na simbulamu abalabe mu maiso go, natumula nti zikiriza. 28 Era Isiraeri atyama mirembe, ensulo ya Yakobo eri lwonka, Mu nsi ey'e ŋaanu n'o mwenge; niiwo awo, eigulu niilyo litoonya omusulo. 29 Olina omukisa iwe Isiraeri: Yani akufaanana iwe, eigwanga eryalokolwa Mukama, engabo ey'o kubbeerwa kwo, era niikyo kitala eky'o bukulu bwo obusinga! Era abalabe bo balikujeemulukukira; weena oliniina ku bifo byabwe ebya waigulu. Ensuula