Ensuula 6
1
Awo abaana ba banabbi ni bakoba Erisa nti Bona ekifo kye tubbamu mu maiso go kituyingire obutono.
2
Tukwegayiriire twabe ku Yoludaani tutooleyo buli muntu omusaale, twekolere eyo ekifo eky'okubbamu. N'airamu nti mwabe.
3
Awo ni wabba atumula nti nkwegayiriire, ikirirya oyabe n'abaidu bo. N'airamu nti Nayaba.
4
Awo n'ayaba nabo. Awo bwe baatuukire ku Yoludaani, ni batema emisaale.
5
Naye omumu bwe yabbaire atema omusaale, empasa n'egwa mu maizi: n'akunga n'atumula nti Ginsangire, mukama wange! kubanga ebbaire njazike.
6
Omusaiza wa Katonda n'atumula nti egwire waina? N'amulaga ekifo. N'atema omusaale n'agusuulawo n'aibbulukusya ekyoma.
7
N'atumula nti gironde. N'agolola omukono gwe n'agikwata.
8
Awo kabaka w’e Busuuli n'alwana ne Isiraeri; n'ateesya n'abaidu be ng'atumula nti Engindi niiyo eribba olusiisira lwange.
9
Omusaiza wa Katonda n'atumira kabaka wa Isiraeri ng'atumula nti wekuume oleke okubita egindi; kubanga eyo Abasuuli gye baserengetere.
10
Kabaka wa Isiraeri n'atuma mu kifo ekyo omusaiza wa Katonda ky'amukobeire ng'amulabula: n'awonera eyo omulundi ti gumu so ti ibiri.
11
Awo omwoyo gwa kabaka w'e Busuuli ni gweraliikirira inu olw'e kigambo ekyo; n'ayeta abaidu be n'abakoba nti Temwantegeezye ali ku ife ali ku lwa kabaka wa Isiraeri?
12
Omumu ku baidu be n'atumula nti Bbe, mukama wange, ai kabaka; naye Erisa nabbi ali mu Isiraeri niiye akobera kabaka wa Isiraeri ebigambo by'otumulira mu nyumba yo gy'ogonamu.
13
N'atumula nti mwabe mubone gy'ali, ntume musyome. Ne bamukobera nti bona, ali mu Dosani.
14
Awo n'atumayo embalaasi n'amagaali n'eigye lingi: ne baiza obwire ne bazingizya ekibuga.
15
Awo omwidu w'o musaiza wa Katonda bwe yagolokokere Amakeeri n'afuluma, bona, eigye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizirye ekibuga. omwidu we n'amukoba nti gitusangire, mukama wange! twakola tutya?
16
N'airamu nti totya: kubanga abali naife bangi okusinga abali nabo.
17
Erisa n'asaba n’atumula nti Mukama wange, nkwegayiriire, omuzibule amaiso ge abone. Awo Mukama n'azibula amaiso g'o mwisuka; n'abona: awo; bona, olusozi nga lwizwire embalaasi n'a magaali ag'omusyo ageetooloire Erisa.
18
Awo bwe baserengetere gy'ali Erisa n'asaba Mukama n'atumula nti nkwegayiriire, ziba amaiso g'abantu bano. N'aziba amaiso gaabwe ng'e kigambo kya Erisa bwe kyabbaire.
19
Erisa n'akoba nti Eno ti niiyo engira so ne kino ti niikyo ekibuga: munsengererye nzena n'abatuukya eri omusaiza gwe musagira. N'abatwala e Samaliya.
20
Awo alwatuukire bwe baatuukire mu Samaliya, Erisa n'atumula nti Mukama: wange, zibula amaiso g'a bantu bano babone. Awo Mukama n'azibula amaiso gaabwe ni babona; kale bona, nga bali mu Samaliya wakati
21
Awo kabaka wa Isiraeri n'akoba Erisa bwe yababoine nti itawange mbakubbe? mbakubbe?
22
N'airamu nti Tobakubba: otaka okukubba abo b'o wambire n'e kitala kyo n'omutego gwo? teeka emere n'a maizi mu maiso gaabwe balye banywe baire eri mukama waabwe.
23
N'abateekerateekera bingi: awo bwe bamalire okulya n'o kunywa n'abasindika ne baaba eri mukama waabwe. Awo ebibiina eby'e Busuuli nga tebikaali biiza ate mu nsi y'e Isiraeri.
24
Awo olwatuukire oluvanyuma lw'ebyo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n'akuŋaanya eigye lye lyonalyona, n'ayambuka n'a zingizya Samaliya.
25
Awo mu Samaliya nga mulimu enjala nyingi: kale, bona ni bakizingizya okutuusya lwe batundire omutwe gw'e ndogoyi olw'e bitundu eby'e feeza kinaana, n'e kitundu eky'okuna eky'e kibya eky'o busa bw'a mayemba nga babutunda olw'e bitundu by'e feeza bitaanu.
26
Awo kabaka we Isiraeri bwe yabbaire ng'a bitawo ku bugwe, omukali n'amukungirira ng'atumula nti Mbeera, mukama wange, ai kabaka.
27
N'atumula nti Mukama bw'ataakuyambe, nze natoola waina eby'okukuyamba? mu iguuliro oba mu isogolero?
28
Kabaka n'amukoba nti Obbaire ki? N'airamu nti Omukali ono yankobere nti waayo omwana wo ow'o bwisuka tumulye watyanu era twalya omwana wange ow'o bwisuka Amakeeri.
29
Awo ne tufumba omwana wange ni tumulya ne mukoba ku lunaku olw'o kubiri nti waayo omwana wo tumulye yena omwana we amugisire.
30
Awo olwatuukire kabaka bwe yawuliire ebigambo by'o mukali n'akanula ebivaalo bye; (era yabbaire ng'abitawo ku bugwe;) abantu ne batandika, kale, bona, ng'avaire ebinyakinyaki munda ku mubiri gwe.
31
Awo n'atumula nti Katonda ankole atyo n'okusingawo, omutwe gwa Erisa mutaane wa Safati bwe gwabba ku iye watyanu.
32
Naye Erisa n'atyama mu nyumba ye n'abakaire ni batyama naye; kabaka n'atuma omusaiza okuva gy'ali: naye omubaka nga akaali kutuuka gy'ali n'akoba abakaire nti muboine ono omwana w'o mwiti bw'atumire okuntoolaku omutwe? kale omubaka bweyaiza, mwigaleewo olwigi munyigirirye olwigi ku iye: ebisinde by'ebigere bya mukama we tibiri nyuma we?
33
Awo ng'akaali atumula nabo, bona, omubaka n'aserengeta gy'ali: n'atumula nti bona, akabbiibi kano kaviire eri Mukama; kiki ekyabba kinindirirya ate Mukama?