Ensuula 5

1 Awo Naamani omukulu w'eigye lya kabaka w'e Busuuli yabbaire musaiza mukulu eri mukama we era w'e kitiibwa, kubanga ku bw'oyo Mukama yabbaire awaire Obusuuli okuwangula: era yabbaire musaiza wa maani muzira, naye yabbaire mugenge. 2 Awo Abasuuli babbaire batabaire bibiina, ne banyaga ne batoola mu nsi ya Isiraeri omuwala omutomuto; awo n'aweereryanga muka Naamani. 3 Awo n'akoba mugole we nti Singa mukama wange ali n'o nabbi ali mu Samaliya! kale yandiwonere ebigenge bye. 4 Awo ne wabba ayingira n'akobera mukama we nti ati bw'atumwire omuwala ow'o mu nsi y'e Isiraeri. 5 Awo kabaka w'e Busuuli n'atumula nti Kale naweererya kabaka wa Isiraeri ebbaluwa. N'ayaba n'atwala talanta ikumi egye feeza n'ebitundu kakaaga ebye zaabu n'e miteeko gy'e bivaalo ikumi. 6 N'aleetera kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ng'atumula nti Kale ebbaluwa eno bw'eribba ng'etuukire gy'oli, bona, nkutumiire Naamani omwidu wange omuwonye ebigenge bye. 7 Awo olwatuukire kabaka wa Isiraeri bwe yasomere ebbaluwa, n'akanula ebivaalo bye n'atumula nti Ninze Katonda ngite era namye, omusaiza ono n'okutuma n'antumira okuwonya omuntu ebigenge bye? naye mulowooze, mbeegayiriire, mutegeere bw'asagira kyeyanangire okutongana nanze. 8 Awo olwatuukire Erisa omusaiza wa Katonda bwe yawuliire nga kabaka wa Isiraeri akanwire ebivaalo bye n'atumira kabaka ng'atumula nti Lwaki okukanula ebivaalo byo? aize gye ndi, kale yamanya nga mu Isiraeri mulimu nabbi. 9 Awo Naamani n'aiza n'embalaasi gye n'amagaali ge, n'ayemerera ku lwigi lw'e nyumba y'Erisa. 10 Erisa n'a mutumira omubaka ng'atumula nti Yaba onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, kale omubiri gwo guliira gy'oli, wena olibba mulongoofu. 11 Naye Naamani n'asunguwala, ne yeirirayo n'atumula nti bona, mbaire nkoba nti taaleke kufuluma gye ndi n'ayemerera n'asaba eriina lya Mukama Katonda we n'abityabitya engalo awali ekifo, n'awonya omugenge. 12 Abana ne Falufali emiiga egy'e Damasiko tegisinga busa maizi gonagona aga Isiraeri? Tinsobola kunaaba omwo ne mba mulongoofu? Awo n'akyuka n'ayaba ng'aliku ekiruyi. 13 Awo abaidu be ni basembera ne batumula naye nti itawange, nabbi singa akulagiire okukola ekigambo ekikulu, tewandikikolere? kale toosinge inu bw'akukobere nti Naaba obe mulongoofu? 14 Awo n'aserengeta ne yeinika mu Yoludaani emirundi musanvu ng'e kigambo bwe kyabbaire eky'o musaiza wa Katonda: omubiri gwe ne gwira ate ng'o mubiri gw'o mwana omutomuto, n’abba mulongoofu. 15 Awo n'airayo eri omusaiza wa Katonda, iye n'ekibiina kye kyonakyona, n'aiza n'ayemerera mu maiso ge: n'atumula nti bona ntegeire nga wabula Katonda mu nsi yonayona wabula mu Isiraeri: kale, nkwegayiriire, toola ekirabo ku mwidu wo. 16 Yeena n'atumula nti Nga Mukama bw'ali omulamu gwe nyemerera mu maiso ge, tinatoole kyonakyona. N'amutayirira okukitoola; naye n'agaana. 17 Awo Naamani n'atumula nti Oba tootoole, naye nkwegayiriire omwidu wo aweebwe eitakali eryetiikibwa n'e nyumbu ibiri; kubanga omwidu wo takaali awayo okuva watyanu ebiweebwayo ebyokyebwa waire sadaaka eri bakatonda abandi wabula eri Mukama. 18 Mukama asonyiwe omwidu wo mu kigambo kino; mukama wange bweyayingiranga mu kiigwa kya Limoni okusinziryayo ne yeesigama ku mukono gwange ni nkutama mu kigwa kya Limoni, bwe nakutamanga mu kigwa kya Limoni, Mukama asonyiwenga omwidu wo mu kigambo ekyo. 19 N'amukoba nti Yaba mirembe. Awo ni baawukana n'atambulaku akabbanga. 20 Naye Gekazi omwidu wa Erisa omusaiza wa Katonda n'atumula nti bona, mukama wange asonyiwire Naamani ono Omusuuli okutoola mu mikono gye ekyo kye yaleetere: nga Mukama bw'ali omulamu, nairuka ni musererya mbeeku kye namutookaku. 21 Awo Gekazi n'asengererya Naamani. Awo Naamani bwe yaboine amusengererya, n'ava ku igaali okumusisinkana, n'atumula nti Mirembe? 22 N'atumula nti Mirembe. Mukama wange antumire ng'atumula nti bona, atyanu nakaiza baize gye ndi nga bava mu nsi y'e nsozi ey'Efulayimu abaaisuka babiri ab'o ku baana ba banabbi; nkwegayiriire, bawe talanta y'e feeza n'e miteeko gy'e bivaalo ibiri. 23 Awo Naamani n'atumula nti ikirirya, otoole talanta ibiri. N'amutayirira, n'asiba talanta ibiri egy'e feeza mu nsawo ibiri wamu n'emiteeko gy'e bivaalo ibiri, n'abitika abaidu be babiri: ni bagyetiikira mu maiso ge. 24 Awo bwe yatuukire ku lusozi, n'abitoola mu mukono gwabwe n'abigisa mu nyumba: n'asindika abasaiza ni bairayo. 25 Yena n'ayingira n'ayemerera mu maiso ga mukama we. Erisa n'amukoba nti ova waina, Gekazi? N'atumula nti omwidu wo abulaku gy'ayabire. 26 N'amukoba nti omwoyo gwange tegwabire naiwe, omusaiza bw'akyukire okuva mu igaali lye okusisinkana naiwe? Niikyo ekiseera okutoola feeza n'okutoola ebivaalo n'e nsuku gy'e mizeyituuni n'ensuku gy'emizabbibu n'e ntama n'e nte n'a baidu n'a bazaana? 27 Kale ebigenge bya Naamani byegaita naiwe n'eizaire lyo emirembe gyonagyona. N'ava w'ali nga mugenge atukula ng'o muzira.