Ensuula 16

1 Mu mwaka ogw'e ikumi n'o musanvu ogwa Peka mutaane wa Lemaliya Akazi mutaane wa Yosamu kabaka we Yuda n'atandika okufuga. 2 Akazi yabbaire yaakamala emyaka abiri bwe yatandikire okufuga; n'afugira emyaka ikumi na mukaaga mu Yerusaalemi: n'atakola ebyabbaire mu maiso ga Mukama Katonda we ebisa nga Dawudi itaaye. 3 Naye n'atambulira mu ngira ya bakabaka ba Isiraeri, n'okubitya n'abitya mutaane we mu musyo ng'e by'e mizizo bwe byabbaire eby'a b'a mawanga Mukama be yabbingire mu maiso g'a baana ba Isiraeri. 4 N'awangayo sadaaka n'ayotereryanga obubaani ku bifo ebigulumivu n'o ku nsozi ne wansi wa buli musaale omubisi. 5 Awo Lezini kabaka w'e Busuuli n'o Peka mutaane wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri ni bambuka e Yerusaalemi okulwana: ne bazingizya Akazi, naye ni batasobola kumuwangula. 6 Mu biseera ebyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yairiiryewo Obusuuli e Erasi n'abbinga Abayudaaya mu Erasi: Abasuuli ni baiza Erasi ne babba eyo ne watyanu. 7 Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'abatumula nti nze ndi mwidu wo era ndi mwana wo : yambuka omponye mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli n'o mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abangolokokeireku. 8 Awo Akazi n'airira ezaabu n’efeeza egyabonekere mu nyumba ya Mukama n'o mu by'o bugaiga eby'o mu nyumba ya kabaka, n'abiweererya kabaka w'e Bwasuli okubba ekirabo. 9 Awo kabaka w'e Bwasuli n'amuwulira: kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Damasiko n'akimenya, n'atwala abaayo nga basibe e Kiri, n'aita Lezini. 10 Awo kabaka Akazi n'ayaba e Damasiko okusisinkana n'o Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli, n'abona ekyoto ekyabbaire e Damasiko: kabaka Akazi n'a weererya Uliya kabona embala y'e kyoto n'e ngeri yaakyo ng'o mulimu gwakyo gwonagwona bwe gwabbaire. 11 Awo Uliya kabona n'a zimba ekyoto nga byonabona bwe byabbaire kabaka Akazi bye yaweereirye ng'a yema e Damasiko atyo Uliya kabona bwe yakikolere kabaka Akazi akisange ng'aviire e Damasiko. 12 Awo kabaka bwe yaizire okuva e Damasiko, kabaka n’abona ekyoto: kabaka n'asemberera ekyoto n'eweerayo ku ikyo sadaaka. 13 N'ayokya ekyo kye yawaireyo ekyokyebwa n'ekyo kye yawaireyo eky'obwita n'afuka ekyo kye yawaireyo ekyokunywa, n'amansira omusaayi gw'e byo bye yawaireyo olw'emirembe ku kyoto. 14 Era ekyoto eky'e kikomo ekyabbaire mu maiso ga Mukama n'akitoola mu bweni bw'e nyumba wakati w'e kyoto kye n'e nyumba ya Mukama, n'akiteeka ku luuyi olw'o bukiika obugooda olw'ebkyoto kye. 15 Awo kabaka Akazi n'alagira Uliya kabona ng'a tumula nti Oyokyeryanga ku kyoto ekinene ekiweebwayo ekyokyebwa eky'a makeeri n'e kiweebwayo eky'o bwita eky'o lweigulo n'ekiweebwayo ekyokyebwa ekya kabaka n'e kikye ekiweebwayo eky'o bwita, wamu n'e kiweebwayo ekyokyebwa eky'abantu bonabona ab'o mu nsi eyo n'e kyabwe ekiweebwayo eky'obwita n'ebyabwe ebiweebwayo ebyokunywa; omansirangaku omusaayi gwonagwona ogw'e kiweebwayo ekyokyebwa n'o musaayi gwonagwona ogwe sadaaka: naye ekyoto eky'e kikomo kyabbanga ky'o kulaguliraku gye ndi. 16 Atyo Uliya kabona n'akola nga byonabona bwe byabbaire kabaka Akazi bye yalagiire. 17 Awo kabaka Akazi n'asalaku emigo gy'e ntebe n'atoola ekinaabirwamu ku igyo; n'ateeka enyanza ng'a gitoola ku ntebe egy'e bikomo egyabbaire wansi waayo, n'agiteeka ku mabbaale amaaliirire. 18 N'e ngira eyabiikiibweku eya sabbiiti gye babbaire bazimbire mu nyumba n'o mulyango gwa kabaka ewanza n'alyetooloolya enyumba ya Mukama olwa kabaka w'e Bwasuli. 19 Era ebikolwa ebindi byonabona ebya Akazi bye yakolere tibyawandiikiibwe mu kitabo eky'e by'omu mirembe gya bakabaka ba Yuda? 20 Akazi ni yeegonera wamu na bazeizabe mu kibuga kya Dawudi: Keezeekiya mutaane we n'afuga mu kifo kye.