Ensuula 5

1 Awo Kiramu kabaka w'e Tuulo n'atuma abaidu be eri Sulemaani; kubanga yawuliire nga bamufukireku amafuta okubba kabaka mu kifo kya itaaye: kubanga Kiramu obw'eira yatakanga Dawudi. 2 Sulemaani n'atumira Kiramu ng'atumula nti 3 Omaite Dawudi itawange nga tiyasoboire kuzimbira liina lya Mukama Katonda we enyumba olw'e ntalo egyamwetooloire enjuyi gyonagyona, okutuusya Mukama lwe yabateekere wansi w'e bigere bye. 4 Naye atyanu Mukama Katonda wange ampaire emirembe enjuyi gyonagyona; Wabula mulabe waire akabbbiibi akaiza. 5 Era, bona, nteeserye okuzimbira eriina lya Mukama Katonda wange enyumba, nga Mukama bwe yankobere Dawudi itawange nti Mutaane wo gwe nditeeka ku ntebe yo ng'aira mu bigere byo niiye alizimbira eriina lyange enyumba. 6 Kale lagira bantemere emivule ku Lebanooni; n'abaidu bange babbanga wamu n'abaidu bo era ndikuwa empeera olw'a baddu bo nga byonabyona bwe biribba by'olikoba: kubanga omaite nga ku ife kubula n'o mumu alina amagezi okutema emisaale okwekakana ab'e Sidoni. 7 Awo olwatuukire Kiramu bwe yawuliire ebigambo bya Sulemaani, n'a sanyuka inu n'atumula nti Mukama yeebazibwe watyanu awaire Dawudi omwana ow'a magezi okufuga eigwanga lino eikulu. 8 Awo Kiramu n'atumira Sulemaani ng'atumula nti Mpuliire by'ontumiire: nakolanga byonabyona by'otaka eby'emisaale egy'e mivule n'e misaale egy'e miberosi. 9 Abaidu bange baligitoola ku Lebanooni ne bagiserengetya ku nyanza: era ndigisengeka okubba ebitindiro okubita ku nyanza okwaba mu kifo ky'olindaga, era ndiragira okugisumululira eyo, wena oligiweebwa: era olikola kye ntaka bwewawanga emere ey'a b'o mu nyumba yange. 10 Awo Kiramu n'awa Sulemaani emisaale egy'e mivule n'e misaale egy'e miberosi nga byonabyona bwe byabbaire bye yatakire. 11 Sulemaani n'awa Kiramu ebigero by'e ŋaanu emitwalo ibiri okubba emere ey'a b'o mu nyumba ye, n'a mafuta amalongoofu ebigero abiri: atyo Sulemaani bwe yawanga Kiramu buli mwaka. 12 Mukama n'awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubizirye; ne wabba emirembe eri Kiramu n'o Sulemaani; ni balagaana Endagaanu bombiri. 13 Awo kabaka Sulemaani n'asoloozya abantu mu Isiraeri yenayena; abaasoloozeibwe ne babba abasaiza emitwaalo isatu. 14 N'abasindikanga e Lebanooni, buli mwezi mutwalo mu biwu: bamalanga omwezi ku Lebanooni, n'e myezi ibiri ewaabwe: era Adoniraamu yena yabbaire omugabe w'abo abaasoloozeibwe. 15 Era Sulemaani yabbaire n'emitwalo musanvu abaasitulanga emigugu, n'emitwalo munaana abatemeranga ku nsozi; 16 obutateekaku baami ba Sulemaani abakulu abalabiriire omulimu, enkumi isatu mu bisatu, abaafugire abantu abaakola omulimu. 17 Kabaka n'alagira ne batema ne batoolayo amabbaale amanene, amabbaale ag'o muwendo omungi, okuteekawo emisingi gy'e nyumba n'a mabbaale amabaize. 18 Abazimbi ba Sulemaani n'a bazimbi ba Kiramu n'Abagebali ni bagalongoosya, ne bategeka emisaale n'a mabbaale okuzimba enyumba.