Ensuula 3
1
Awo Sulemaani n'abba muko wa Falaawo kabaka w'e Misiri, n'atwala muwala wa Falaawo, n'amuleeta mu kibuga kya Dawudi, Okutuusya lwe yamalire okuzimba enyumba ye iye, n'e nyumba ya Mukama, ne bugwe wa Yerusaalemi enjuyi gyonagyona.
2
Kyoka abantu ni baweerangayo sadaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga wabula nyumba eyazimbiirwe eriina lya Mukama Okutuusya ku biseera ebyo.
3
Sulemaani n'ataka Mukama, ng'atambulira mu mateeka ga Dawudi itaaye: kyoka yaweerangayo sadaaka era yayokyeryanga obubaani ku bifo ebigulumivu.
4
Awo kabaka n'ayaba e Gibyoni okuweerayo sadaaka; kubanga ekyo niikyo kyabbaire ekifo ekigulumivu ekikulu: Sulemaani n'aweerayo ku kyoto ekyo sadaaka egyookyebwa lukumi.
5
Mukama n'abonekera Sulemaani e Gibyoni mu kirooto obwire: Katonda n'atumula nti Saba kye mbe nkuwe.
6
Sulemaani n'atumula nti Wamukoire kusa inu omwidu wo Dawudi itawange, nga bwe yatambwire mu maiso go mu mazima n'o mu butuukirivu n'o mu bugolokofu bw'o mwoyo wamu naiwe; era wamugisiire ekisa kino ekinene kubanga omuwaire omwana ow'o kutyama ku ntebe ye, nga bwe kiri atyanu.
7
Era, ai Mukama Katonda wange, ofiire omwidu wo kabaka mu kifo kya Dawudi itawange: Nzena ndi mwana mutomuto: Timaite kufuluma waire okuyingira.
8
Era omwidu wo ali wakati mu bantu bo be walondere, eigwanga einene, eritasoboka kubalibwa waire okugaitibwa kusa.
9
Kale muwe omwidu wo omwoyo omutegeevu okusalanga emisango gy'a bantu bo, njawulemu ebisa n'e bibbiibi: kubanga yani asobola okusala emisango gy'e igwanga lyo lino eikulu?
10
Awo ebigambo ebyo ni bisanyusya Mukama, kubanga Sulemaani asabire ekyo.
11
Katonda n'amukoba nti Kubanga osabire kino, so tiweesabiire kuwangaala; so teweesabiire bugaiga, so teweesabiire bulamu bwa balabe bo: naye weesabiire obutegeevu okwawulamu emisango:
12
bona, nkolere ng'e kigambo kyo bwe kiri: bona, nkuwaire omwoyo omugezigezi era omutegeevu; obutabbangawo akwekankana okusooka iwe, so n'oluvanyuma lwo tewaligolokoka akwekankana.
13
Era nkuwaire n'ebyo by'otosabire, obugaiga n'e kitiibwa, obutabbangawo mu bakabaka n'o mumu akwekankana enaku gyo gyonagyona.
14
Era bwewatambuliranga mu mangira gange, okukwatanga amateeka gange n'e biragiro byange, nga itaawo Dawudi bwe yatambwire, awo ndyongera ku naku gyo.
15
Awo Sulemaani n'azuuka, era, bona, kyabbaire kirooto: n'aiza e Yerusaalemi n'ayemerera mu maiso g'e sanduuku ey'e ndagaanu ya Mukama, n'a waayo ebiweebwayo ebyokyebwa n'a waayo ebiweebwayo olw'e mirembe, n'a fumbira abaidu be bonabona embaga.
16
Awo ni waiza eri kabaka abakali babiri, ababbaire abenzi, ne beemerera mu maiso ge.
17
Omukali omumu n'atumula nti Ai mukama wange, nze n'o mukali ono tugona mu nyumba imu; nazaire omwana nga ndi wamu naye mu nyumba.
18
Awo olwatuukiire nga naakamala enaku isatu okuzaala, omukali ono n'a zaala yeena; era twabbaire wamu; wabula mugeni wamu naife mu nyumba, wabula ife fembiri mu nyumba.
19
Awo omwana w'o mukali ono n'afa obwire; kubanga yamugoneire.
20
N'agolokoka mu itumbi n'atoola omwana wange mu mpete gyange, omuzaana wo nga agonere, n'a muteeka mu kifubba kye, n'ateeka omwana we afiire mu kifubba kyange.
21
Awo bwe nagolokokere amakeeri okuyonkya omwana wange, bona, ng'afiire: naye bwe nakifumiintirizire amakeeri, bona, nga ti niiye mwana wange gwe nazaire.
22
Omukali ogondi n'atumula nti Bbe; naye omulamu niiye mwana wange, n'o mufu niiye mwana wo. N'ono n'atumula nti; Bbe naye omufu niiye mwana wo, n'o mulamu niiye mwana wange. Batyo bwe batumwire mu maiso ga kabaka.
23
Awo kabaka n'atumula nti Omumu atumula nti Ono omulamu niiye mwana wange, n'o mufu niiye mwana wo: Mwinaye n'atumula nti Bbe: naye omufu niiye mwana wo, n'o mulamu niiye mwana wange.
24
Awo kabaka n'atumula nti Mundeetere ekitala. Ni baleeta ekitala mu maiso ga kabaka.
25
Kabaka n'atumula nti Musaleemu omwana omulamu, muwe omumu kitundu no mwinaye kitundu.
26
Awo maye w'o mwana omulamu kaisi n'akoba kabaka, kubanga omwoyo gwe gwalumiirwe omwana we, n'atumula nti Ai mukama wange, muwe iye omwana omulamu, so tomwita n'akamu. Naye iye ogondi n'atumula nti Talibba wange waire owuwo; mumusalemu.
27
Awo kabaka n'airamu n'atumula nti Mumuwe iye omwana omulamu, so timumwita n'akamu: oyo niiye maye.
28
Isiaeri yenayena n'awulira omusango kabaka gw'asalire; ni batya kabaka: kubanga baboine ng'amagezi ga Katonda gali mu iye, okusalanga emisango.