Ensuula 6
1
Kale twatumula tutya? Tunyiikirenga okukola ekibbiibi ekisa kyeyongerenga?
2
Kitalo. Abaafa ku kibbiibi, twabbanga tutya abalamu mu ikyo ate?
3
Oba Temumaite nga ife fenafena, ababatiziibwe okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatiziibwe kuyingira mu kufa kwe?
4
Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukiziibwe mu bafu olw'ekitiibwa kya Itaaye, tutyo feena tutambulirenga mu bulamu obuyaka.
5
Kuba obanga twagaitiibwe wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligaitibwa no mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe
6
bwe tumanya kino ng'omuntu waisu ow'eira yakomereirwe wamu naye, omubiri gw'ekibbiibi kaisi gutolebwewo, tuleke okubbeeranga ate abaidu b'ekibbiibi;
7
kubanga afa nga takaali aliku omusango eri ekibbiibi.
8
Naye oba nga twafiirire wamu no Kristo, era twikirirya nga tulibba balamu wamu naye;
9
bwe tumaite nga Kristo yamalire okuzuukizibwa mu bafu takaali afa ate; okufa tekukaali kumufuga.
10
Kubanga okufa kwe yafiire, yafiire ku kibbiibi omulundi gumu: naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda.
11
Mutyo mweena mwerowoozenga okubba abafa ku kibbiibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
12
Kale ekibbiibi kirekenga okufuga mu mubiri gwanyu ogufa, okuwuliranga okwegomba kwagwo:
13
so temuwangayo bitundu byanyu eri ekibbiibi okubanga eby'okukolya obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byanyu okubbanga eby'okukolya obutuukirivu eri Katonda.
14
Kubanga ekibbiibi tekyabbenga mukama wanyu; kubanga amateeka ti niigo gabafuga, wabula ekisa.
15
Kale tukole tutya? tukolenga ekibbiiibi, kubanga amateeka ti niigo atufuga, wabula ekisa? Kitalo.
16
Temumaite nga gwe mwewa okubba abaidu b'okuwulira, muli baidu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibbiibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu?
17
Naye Katonda yeebale, kubanga mwabanga baidu b'ekibbiibi, naye mwawuliire mu mwoyo engeri eyo y'okwegeresebwa gye mwaweweibwe;
18
kale bwe mwaweweibwe eidembe kuva mu kibbiibi, ne mufuuka abaidu b'obutuukirivu.
19
Ntumula mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwanyu: kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byanyu okubba baidu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, mutyo atyanu muwengayo ebitundu byanyu okubbanga abaidu eri obutuukirivu okutukuzibwa.
20
Kubanga bwe mwabbanga abaidu b'ekibbiibi, mwabanga b'eidembe eri obutuukirivu.
21
Kale bibala ki bye mwabbaire nakyo mu biseera bidi eby'ebigambo ebibakwatisia ensoni atyanu? kubanga enkomerero yaabyo kufa.
22
Naye atyanu bwe mwaweweibwe eidembe okuva mu kibbiibi, ne mufuuka abaidu ba Katonda, mulina ebibala byanyu olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutawaawo.
23
Kubanga empeera y'ekibbiibi niikwo kufa; naye ekirabo kya Katonda niibwo bulamu obutawaavo mu Kristo Yesu Mukama waisu.