Ensuula 2

1 Oyo atandagira ayambukire mu maiso go; kuuma ekigo, lingirira engira, nyweza enkende yo, bba n'amaani agatasingika. 2 Kubanga Mukama airyaawo ekitiibwa ekingi ekya Yakobo, ng'ekitiibwa ekingi ekya Isiraeri; kubanga abaitululi babaitulwire ne baaya amatabi g'emizabbibu gyabwe. 3 Engaizo gy'abazira niibo be gisiigibwaku gerenge; abantu ab'amaani bavaire engoye entwakaali; ebyoma by'amagaali bimasamasa ku lunaku lw'ateekateeka, era amasumu gagalulwa n'entiisia. 4 Amagaali gatayira mu nguudo mbiro, ganyigana mu nguudo engaizi; gafaanana ng'engada, gabuukabuuka ng'emyansa. 5 Aijukira ab'ekitiibwa ababe; beesitala nga baaba; banguwa okutuuka ku bugwe ow'ekigo, ogugabo ne guteekebwateekebwa. 6 Enjigi egy'oku miiga gigwirwewo, enyumba ya kabaka ne bagisaanyaawo. 7 Kuzabu n'avumbuka, n'atwalibwa, abazaana be ne bakunga nga n'eidoboozi ly'amayeba nga bakubba mu bifubba byabwe. 8 Naye Nineeve kibairewo okuva mu naku egy'eira ng'ekidiba ky'amaizi; naye bairuka; Mwemerere, mwemerere, bwe bakoowoola; naye wabula alingirira enyuma. 9 Munyage efeeza, munyage ezaabu; ebigisiibwe binulaku we bikoma, omuwendo ogw'ebintu byonabyona ebyegombebwa. 10 Kiri busa, kiri bwereere, kizikire: wabula aguma omwoyo, amakumbo gakubbagana, okulumizibwa kuli mu nkende gyonagyona, era abantu bonabona batukulatukula mu maiso olw'entiisa. 11 Empuku y'empologoma eri waina, n'eidiiro ly'empologoma entonto, empologoma ensaiza n'enduusi we gyatambuliranga, omwana gw'empologoma, so wabula agitiisya? 12 Empologoma yataagwiretaagwire eky'okumala abaana baayo, n'etugira empologoma gyayo enduusi, n'eizulya empuku gyayo omuyiigo n'ebigonero byayo ebitaagulwa. 13 Bona, ndi mulabe wo, bw'atumula Mukama w'eigye; nzeena ndyokya amagaali gaakyo mu mwoka, n'ekitala kirizikirirya empologoma gyakyo entonto; era nditoola ku nsi ky'otaagula, n'eidoboozi ly'ababaka bo terywulirwenga ate.