1
Katonda eira bwe yatumulanga mu bitundu ebingi ne mu ngeri enyingi eri bazeiza baisu mu banabbi,
2
mu naku gino egy'oluvanyuma yatumuliire naife mu Mwana, gwe yatekerewo okubba omusika wa byonabyona, era gwe yatondeirye ebintu byonabyona;
3
oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye dala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonabyona n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamalire okukola eky'okunaabya ebibbiibi, n'atyama ku mukono omuliiro ogw'Obukulu waigulu;
4
ng'asinga obusa bamalayika ati nga bwe yasikiire eriina eribasinga ibo.
5
Kubanga yani ku bamalayika gwe yakobeireku nti iwe oli Mwana wange, atyanu nkuzaire iwe? era ate nti Nze naabbanga Itaaye gy'ali, Yeena yabbanga Mwana gye ndi?
6
Era ate bw'aleeta omuberyeberye mu nsi, atumula nti Era bamalayika ba Katonda bonabona bamusinzenga.
7
Era atumula ku bamalayika nti Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be enimi gy'omusyo:
8
naye ku Mwana atumula nti Entebe yo, ai Katonda, yo lubeerera emirembe n'emirembe; N'omwigo ogw'obugolokofu niigwo mwigo ogw'obwakabaka bwo.
9
Watakire obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyaviire akufukaku Amafuta ag'okusanyuka okusinga bainawo.
10
Era nti, Mukama, ku luberyeberye watekerewo emisingi gy'ensi, N'eigulu mulimu gwe mikono gyo:
11
Ebyo biriwaawo; naye iwe oliwo lubeerera: N'ebyo byonabyona birikairiwa ng'ekivaalo;
12
Era olibizinga ng'eisuuka, Ng'ekivaalo, ne biwaanyisibwa: Naye iwe obba bumu, N'emyaka gyo tegiriwaawo.
13
Naye ku malayika ki gwe yatumwireku nti Tyama ku mukono gwange muliiro, Okutuusia lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo?
14
Bonabona ti niigyo emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw'abo abaaba okusikira obulokozi?