Ensuula 9

1 Awo ebigambo ebyo bwe byakoleibwe, abakulu ne bansemberera nga batumula nti Abantu ba Isiraeri na bakabona n'Abaleevi tebeeyawire na mawanga ag'omu nsi nga bakola okusengererya emizizo gyabwe, egy'Abakanani n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abayebusi n'Abamoni n'Abamowaabu n'Abamisiri n'Abamoli. 2 Kubanga beekwereire ku bawala baabwe, na bataabane baabwe babakwereireku; kityo eizaire eitukuvu ne lyetabula n'amawanga ag'omu nsi: niiwo awo, omukono gw'abakulu n'abafuga gwe gusingire okwonoona gutyo. 3 Awo bwe nawuliire ekigambo ekyo, ne nkanula ekivaalo kyange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula enziiri egy'oku mutwe gwange n'egy'omu kirevu kyange, ne ntyama nga nsamaaliriire. 4 Awo ne wakuŋaanira gye ndi bonabona abatengerera ebigambo bya Katonda wa Isiraeri olw'okusobya ku abo ab'obusibe; ne ntyama nga nsamaaliriire ne ntuukya ekitone eky'olweigulo. 5 Awo ekitone eky'olweigulo bwe kyaweweibweyo ne ngolokoka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekivaalo kyange n'omunagiro gwange nga bikanukire; ne nfukamira ku makumbo gange ne nyanjululya engalo gyange eri Mukama Katonda wange; 6 ne ntumula nti Ai Katonda wange, nkwatiibwe ensoni, amaiso gange ne gamyuka okuyimusa amaiso gange gy'oli, Katonda wange: kubanga obutali butuukirivu bwaisu bweyongeire okusinga omutwe gwaisu, n'omusango gwaisu gukulire gituukire mu igulu. 7 Okuva ku naku gya bazeiza baisu nga tukola omusango munene inu ne watyanu; era olw'obutali butuukirivu bwaisu Kyetwaviire tugabulwa, ife, bakabaka baisu na bakabona baisu, mu mukono gwa bakabaka b'ensi, eri ekitala, eri obusibe n'eri okunyagibwa n'amaiso gaisu okukwatibwa ensoni nga watyanu. 8 Ne atyanu akaseera katono ekisa kiragiibwe ekiva eri Mukama Katonda waisu, okutulekera ekitundu eky'okuwona n'okutuwa eninga mu kifo kye ekitukuvu, Katonda waisu ayakire amaiso gaisu n'okutuwa okuweeraweeraku akatono mu busibe bwaisu. 9 Kubanga tuli basibe; naye Katonda waisu tatwawuliire mu bwidu bwaisu, naye atwongeireku okusaasirwa mu maiso ga bakabaka b'e Buperusi, okutuwa okuweeraweera, okusimba enyumba ya Katonda waisu n'okudaabirizya ebyayo ebyagwire n'okutuwa bugwe mu Yuda ne mu Yerusaalemi. 10 Kale, ai Katonda waisu, twatumula ki oluvannyuma lwa bino? kubanga twalekere ebiragiro byo, 11 bye walagiriire mu baidu bo banabbi ng'otumula nti Ensi gye muyingira okugirya nsi eteri nongoofu olw'obutali bulongoofu bw'amawanga ag'omu nsi, olw'emizizo gyabwe, abaagizwirye obugwagwa bwabwe eruuyi n'eruuyi. 12 Kale temuwanga bawala banyu bataane baabwe, so temutwaliranga bataane banyu bawala baabwe, so temusagiranga mirembe gyabwe waire omukisa gwabwe emirembe gyonagyona: mubbe n'amaani mulye obusa bw'ensi, mugirekere abaana banyu okubba obusika emirembe gyonagyona. 13 Era ebyo byonabyona nga bimalire okututuukaku olw'ebikolwa byaisu ebibbiibi n'olw'okwirya omusango omunene, kubanga iwe, Katonda waisu, watubonerezeryeku katono so ti ng'obutali butuukirivu bwaisu bwe bwasaanira, n'otuwa ekitundu ekyekankana awo, 14 tulisobya ate amateeka go ne tubba bako b'amawanga agakola eby'emizizo? tewanditusunguwaliire okutuusya lwe wandituzikirizirye, obutabbaawo kitundu ekifiikirewo waire ow'okuwona? 15 Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, niiwe mutuukirivu; kubanga ife tusigaire ekitundu ekifiikirewo ekiwonere nga bwe kiri watyanu: bona, tuli mu maiso go nga tukolere omusango; kubanga wabula ayinza okwemerera mu maiso go olw'ekyo