1
Awo olwatuukire mu mwaka ogw'omukaaga mu mwezi ogw'omukaaga ku lunaku oIw'okutaanu olw'omwezi, bwe nabbaire nga ntyaime mu nyumba yange n'abakaire ba Yuda nga batyaime mu maiso gange, omukono gwa Mukama Katonda ne gugwira eyo ku nze.
2
Awo ne moga, era, bona, ekifaananyi ekyabbaire ng'embala ey'omusyo; okuva ku mbala ey'enkende ne wansi, musyo: n'okuva ku nkende yakyo n'okwambuka, ng'embala ey'okumasamasa, ng'eibala lye zaabu etabwirwemu efeeza.
3
Awo n'agolola ekyabbaire ng'omukono n'ankwata ku muvumbo gw'enziiri egy'oku mutwe gwange; omwoyo ne gunsitula wakati w'ensi n'eigulu ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa kwa Katonda, eri olwigi olw'omulyango ogw'oluya olw'omunda, ogulingiriira obukiika obugooda; awali entebe ey'ekifaananyi eky'eiyali ekireeta eiyali.
4
Awo, bona, ekitiibwa kya Katonda wa Isireaeri kyabbaire eyo ng'embala bwe yabbaire gye naboneire mu lusenyu.
5
Awo n'ankoba nti Omwana w'omuntu, yimusya amaiso go atyanu eri engira eyaba obukiika obugooda. Awo ne nyimusya amaiso gange eri engira eyaba obukiika obugooda, kale, bona, ekifaananyi kino eky'eiyali nga kiri mu mulyango ku luuyi olw'obukiika obugooda olw'omulyango ogw'ekyoto.
6
Awo n'ankoba nti Omwana w'omuntu, obona kye bakola? obona emizizyo emikulu enyumba ya Isiraeri gye bakoleire wano, kaisi neesambe wala awatukuvu wange? naye wabona ate n'emizizyo egindi emikulu.
7
Awo n'andeeta ku lwigi olw'eiyali; awo bwe nalingire, bona, ekituli nga kiri mu kisenge.
8
Awo n'ankoba nti mwana w'o muntu, sima mu kisenge awo bwe namalire okusima mu kisenge, bona, olwigi.
9
N'ankoba nti Yingira obone emizizyo egy'obubbiibi gye bakolera wano.
10
Awo ne nyingira ne mbona; era, bona, buli ngeri ey'ebyewalula n'ensolo egy'e mizizyo n'ebifaananyi byonabyona eby'enyumba ya Isiraeri nga bitoneibwe ku kisenge enjuyi gyonagyona.
11
Era nga weemereire mu maiso gaabyo Abasaiza nsanvu ku bakaire ab'omu nyumba ya Isiraeri, ne wakati mu ibo nga mwemereire Yaazaniya mutaane wa Safani, buli muntu ng'akwaite ekyotereryo kye mu mukono gwe; akaloosa ak'ekireri eky'obubaani ne kanyooka.
12
Awo n'ankoba nti mwana w'omuntu, oboine abakaire ab'omu nyumba ya Isiraeri kye bakolere mu ndikirirya, buli muntu mu bisenge bye ebirimu ebifaananyi? kubanga batumula nti Mukama tatubona; Mukama yalekere ensi.
13
Era n'ankoba nti Era wabona ate n'emizizyo egindi emikulu gye bakola.
14
Awo n'andeeta eri olwigi olw'omulyango ogw'enyumba ya Mukama ogwayolekeire obukiika obugooda; awo, bona, abakali nga batyaime eyo nga bakungira Tamuzi.
15
Awo n'ankoba nti oboine, omwana w'omuntu? era wabona ate emizizyo egisinga gino obukulu.
16
Awo n'andeeta mu luya olw'omunda olw'enyumba ya Mukama, kale, bona, ku lwigi olwe yeekaalu ya Mukama wakati w'ekisasi n'ekyoto nga waliwo abasaiza ng'abiri na bataanu, abakubbire enkoone yeekaalu ya Mukama n'amaiso gaabwe nga galingirira ebuvaisana; era nga basinza eisana nga balingirira ebuvaisana.
17
Awo n'ankoba nti oboine, omwana w'omuntu? kigambo kyangu eri enyumba ya Yuda nga bakola emizizyo gye bakolera wano? kubanga baizwiirye ensi ekyeju, era bakyukire ate okunsunguwalya: era, bona, basemberya eitabi ku nyindo yaabwe.
18
Era nzena kyendiva nkola n'ekiruyi: eriiso lyange teririsonyiwa so tindikwatibwa kisa: era waire nga bakunga n'eidoboozi inene mu matu gange, tindibawulira.