Ensuula 48

1 Era gano niigo maina g'ebika okuva ku nkomerero ey'obukiika obugooda, ku mbali kw'e ngira Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Damasiko, ku luuyi olw'o bukiika obugooda ku mbali kw'e Kamasi; era balibba n'empete gyabwe nga giringirira ebuvaisana n'ebugwaisana; Daani omugabo gumu. 2 N'awali ensalo ya Daani, okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Aseri omugabo gumu. 3 N'awali ensalo ya Aseri, okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Nafutaali omugabo gumu. 4 N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Manase omugabo gumu. 5 N'awali ensalo ya Manase, okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Efulayimu omugabo gumu. 6 N'awali ensalo ya Efulayimu, okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Lewubeeni omugabo gumu. 7 N'awali ensalo ya Lewubeeni, okuva ku lumpete olw'ebuvaisna okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Yuda omugabo gumu. 8 Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana, niiwo walibba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo engada emitwaalo ibiri mu nkumi itaanu n'o buwanvu nga bwekankana ogumu ku migabo, okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'e bugwaisana: n'awatukuvu walibba mu ikyo wakati. 9 Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiribba obuwanvu bwakyo engada emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu, n'o bugazi mutwaalo. 10 N'ekitone ekitukuvu kiribba ky'abo, kya bakabona; eri obukiika obugooda obuwanvu emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu, n'eri obugwaisana obugazi mutwalo, n'eri obuvaisana obugazi mutwalo, n'eri obukiika obulyo obuwanvu emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu: n'awatukuvu wa Mukama walibba wakati mu ikyo. 11 Kiribba kya bakabona abatukuzibwa ab'oku bataane ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nalagiire; abatawabire nga abaana ba Isiraeri bwe bawabire, nga Abaleevi bwe bawaba. 12 Era kiribba gye bali ekitone ekitoolebwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu einu, awali ensalo ey'Abaleevi. 13 n'Abaleevi balibba n'ekitundu ekyekankana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu n'obugazi mutwalo: obuwanvu bwonabwona bulibba emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu n'obugazi mutwalo: 14 So tibakitundanga so tebakiwaanyisyanga, so n'e bibala ebiberyeberye eby'ensi tibifuukanga bya bandi: kubanga kitukuvu eri Mukama. 15 N'enkumi eitaanu egifiikirewo mu bugazi mu maiso g'emitwalo eibiri mu nkumi itaanu giribba gya bantu bonabona okulya, gye kibuga, gyo kubbeerwamu era gye mbuga: era ekibuga kiribba wakati omwo. 16 Era kuno niikwo kulibba okugerebwa kwawo; olumpete olw'obukiika obugooda enkumi ina mu bitaanu, n'olumpete olw'obukiika obulyo enkumi ina mu bitaanu, n'o ku lumpete olw'e buvaisana, enkumi ina mu bitaanu, n'olumpete olw'ebugwaisana enkumi ina mu bitaanu. 17 Era ekibuga kiribbaaku embuga; eri obukiika obugooda bibiri mu ataanu, n'eri obukiika obulyo bibiri mu ataanu, n'eri obuvaisana bibiri mu ataanu, n'eri obugwaisana bibiri mu ataanu. 18 N'obuwanvu obufiikirewo obwekankana ekitone ekitukuvu bulibba mutwalo ebuvaisana n'o mutwalo ebugwaisana: era bulyekankana ekitone ekitukuvu; n'ebibala byamu biribba byo kulya eri abo abakola emirimu mu kibuga. 19 N'abo abakola emirimu mu kibuga ab'omu bika byonabyona ebya Isiraeri bakirimanga. 20 Ekitone kyonakyona kiribba obugazi emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu n'obuwanvu emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu: muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyekankana enjuyi gyonagyona, wamu n'obutaka obw'ekibuga. 21 N'ekitundu ekifiikirewo kiribba ky'o mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'e ruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maiso g'emitwalo ibiri mu nkumi itaanu obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'e buvaisana, n'ebugwaisana mu maiso g'emitwalo ibiri mu nkumi itaanu okwolekera ensalo ey'e buvagwaisana, okwekankana emigabo, kye kiribba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu aw'enyumba biribba wakati omwo. 22 Era ate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'o kuva ku bataka obw'e kibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'e nsalo ya Yuda n'e nsalo ya Benyamini, walibba wa mulangira. 23 N'ebika ebindi; okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'e bugwaisana; Benyamini omugabo gumu. 24 N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'e bugwaisana; Simyoni omugabo gumu. 25 N'a wali ensalo ya Simyoni okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Isakaali omugabo gumu. 26 N'a wali ensalo ya Isakaali okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'e bugwaisana; Zebbulooni omugabo gumu. 27 N'a wali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Gaadi omugabo gumu. 28 N'awali ensalo ya Gaadi, ku lumpete olw'obukiika obulyo mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'etuuka ku maizi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kaiga ak'e Misiri okutuuka ku nyanza enene. 29 Eyo niiyo nsi gye muligabanira n'o bululu ebika bya Isiraeri okubba obusika, era egyo niigyo migabo gyabwe kimu ku kimu, bw'atumula Mukama Katonda. 30 Era wano ekibuga we kikoma; ku lumpete olw'o bukiika obugooda engada enkumi ina mu bitaanu egigerebwa: 31 n'emiryango egy'ekibuga giribba ng'amaina g'ebika bya Isiraeri; emiryango isatu egiringirira obukiika obugooda: omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu; omulyango gwa Leevi gumu: 32 n'o ku lumpete olw'ebuvaisana engada enkumi ina mu bitaanu; n'e miryango isatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu; omulyango gwa Daani gumu: 33 n'o ku lumpete olw'o bukiika obulyo engada enkumi ina mu bitaanu egigereibwe; n'e miryango isatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu; omulyango gwa Zebbulooni gumu: 34 ku lumpete olw'e bugwaisana engada enkumi ina mu bitaanu, n'emiryango gyabwe isatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu; omulyango gwa Nafutaali gumu. 35 Kiribba kye ngada mutwalo mu kanaana okwetooloola: n'e riina ery'e kibuga okuva ku lunaku olwo liribba nti Mukama ali omwo.