Ensuula 47
1
Awo n'a ngiryayo ku lwigi olw'e nyumba; kale, bona, amaizi gaasibuka nga gava wansi w'o mulyango ogw'e nyumba ebuvaisana, kubanga obweni bw'e nyumba bwayolekeire obuvaisana: amaizi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'e nyumba olulyo ku luuyi olw'e kyoto olw'o bukiika obulyo.
2
Awo n'a nfulumirya mu ngira ey'o mulyango obukiika obugooda, n'a ntwala n'aneetooloolya mu ngira eye wanza okutuuka ku mulyango ogw'e wanza mu ngira ey'o mulyango ogulingirira ebuvaisana; era, bona, amaizi nga gakulukutira ku luuyi olulyo.
3
Omusaiza bwe yaviiremu ng'a njaba ebuvaisana ng'a kwaite omuguwa mu mukono gwe, n'agera emikono lukumi, n'a mbitya mu maizi, amaizi agakoma mu bukongovvule.
4
Ate n'agera lukumi, n'a mbitya mu maizi, amaizi agakoma mu makumbo. Ate n'agera lukumi, n'a mbitya mu maizi, amaizi agakoma mu nkende.
5
Oluvanyuma n'agera lukumi; ne gubba mwiga gwe ntasoboire kusomoka: kubanga amaizi gabbaire gatumbwire, amaizi ag'o kuwugirira, omwiga ogutasoboka kusomokeka.
6
N'ankoba nti mwana w'o mumu, oboine? Awo n'antwala n'angiryayo ku lubalama lw'o mwiga.
7
Awo bwe nabbaire nga ngirireyo, bona, ku lubalama lw'o mwiga nga kuliku emisaale mingi inu eruuyi n'eruuyi.
8
Awo n'a nkoba nti amaizi gano gasibuka okwabaa mu njuyi egy'e buvaisana, era galiserengeta mu Alaba: era galyaba eri enyanza; mu nyanza amaizi gye galiira agaasibusiibwe; era amaizi galiwonyezebwa:
9
Awo olulituuka buli kintu ekiramu kye gaizula mu buli kifo emiiga gye girituuka kiriibba kiramu; era walibbaawo olufulube lw'e bye nyanza lungi inu: kubanga amaizi gano gatuukire eyo, n'amaizi ag'omu nyanza galiwonyezebwa, na buli kintu kiribba kiramu buli omwiga gye gwatuukanga.
10
Awo olulituuka abavubi balyemerera ku mbali gaagwo: okuva Engedi okutuuka e Negulayimu walibba ekifo eky'okusuuliramu ebitiimba; eby'e nyanza byabwe biribba ng'engeri gyabyo bwe biribba, okwekankana eby'e nyanza ebiri mu nyanza enene, bingi inu dala.
11
Naye ebifo eby'eitosi n'emiiga gyagwo tebiriwonyezebwa; biriweebwayo eri omunyu.
12
Era ku miiga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli musaale ogubbaaku emere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'e bibala byagwo tibiriwaawo: gulibala ebibala biyaka buli mwezi kubanga amaizi gaagwo gava mu watukuvu: n'ebibala byagwo biribba mere, n'amalagala gaagwo galibba go bulezi kuwonya.
13
Ati bw'atumula Mukama Katonda nti eno niiye eribba ensalo gye muligabaniraku ensi okubba obusika ng'ebika eikumi n'ebibiri ebya Isiraeri bwe biri: Yusufu alibba n'emigabo.
14
Mwena muligisika buli muntu nga mwinaye: gye nayimusiirye omukono gwange okugiwa bazeiza banyu: era ensi eno eribagwira okubba obusika.
15
Era eno niiyo eribba ensalo y'e nsi: ku luuyi olw'o bukiika obugooda okuva ku mbali kw'engira ey'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi;
16
Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'e nsalo y'e Damasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukatikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani.
17
N'e nsalo eva ku nyanza eribba Kazalenooni awali ensalo y'e Damasiko, n'o ku luuyi olw'o bukiika obugooda obukiika obwa obulyo niiyo eri ensalo y'e Kamasi. Olwo niilwo luuyi olw'obukiika obugooda.
18
N'o luuyi olw'ebuvaisana wakati w’e Kawulaani ne Damasiko ne Gireyaadi n'e nsi ya Isiraeri lulibba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'o bukiika obugooda okutuuka ku nyanza ey'e buvaisana. Olwo niilwo luuyi olw'ebuvaisana.
19
N'oluuyi olw'o bukiika obulyo eri obukiika obulyo luliva ku Tamali okutuuka ku maizi ag'e Meribosukadesi okutuuka ku kaiga ak'e Misiri okutuuka ku nyanza enene. Olwo niilwo luuyi olw'obukiika obulyo mu busimba bwabwo.
20
N'oluuyi olw'e bugwaisana lulibba nyanza nene okuva ku nsalo ey'obukiika obulyo okutuuka awayolekera awayingirirwa mu Kamasi. Olwo niirwo luuyi olw'ebugwaisana.
21
Mutyo bwe muligabana ensi eno mwenka na mwenka, ng'ebika bya Isiraeri bwe biri.
22
Awo olulituuka muligigabana n'obululu okubba obusika gye muli n'eri banaigwanga ababba mu imwe abalizaala abaana mu imwe; kale balibba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; balibba n'obusika wamu naimwe mu bika bya Isiraeri.
23
Awo olulituuka mu buli kika munaigwanga mweyabbanga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'atumula Mukama Katonda.