Ensuula 44

1 Awo n'angiryayo mu ngira ery'o mulyango ogw'ewanza ogw'a watukuvu ogulingirira obuvaisana; awo nga lwigale. 2 Awo Mukama n'a nkoba nti omulyango guno guliigalwawo, tiguliigulwawo so tiwalibba muntu aliyingirira mu igwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiriire omwo; kye gwavanga gwigalwawo. 3 Omulangira niiye alityama omwo nga iye mulangira okuliiranga emere mu maiso ga Mukama; aliyingira ng’a fuluma mu ngira ey'e kisasi eky’o mulyango, n'o mu ngira omwo mwe yabitanga ng'a vaamu. 4 Awo n'a ntwala mu ngira ey'o mulyango ogw'obukiika obugooda mu maiso g'e nyumba; ni ninga, kale, bona, ekitiibwa kya Mukama nga kizwiire enyumba ya Mukama; ne nvuunama amaiso gange; 5 Awo Mukama n'a nkoba nti mwana w'o muntu, weetegereze inu, omoge n'a maiso go era owulire n'a matu go ebyo byonabyona bye nkukoba ku biragiro byonabyona eby'omu nyumba ya Mukama n'a mateeka gaayo gonagona; era weetegereze inu awayingirirwa mu nyumba na buli awafulumirwa mu watukuvu. 6 Era okobanga abajeemu, okobanga enyumba ya Isiraeri nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Ai imwe enyumba ya Isiraeri, emizizo gyanyu gyonagyona gibamale, 7 kubanga mwegeresya banaigwanga abatali bakomole mu mwoyo era abatali bakomole mu mubiri, okubbeerera mu watukuvu wange, okwonoonawo, enyumba yange, bwe muwaayo emere yange, amasavu n'o musaayi, era ibo bamenye endagaanu yange, okwongera ku mizizyo gyanyu gyonagyona. 8 So timukuumire bintu byange ebitukuvu bye mwalagiirwe: naye mweteekeirewo mwenka abakuumi b'e byo bye nalagiire mu watukuvu wange. 9 Ati bw'atumula Mukama Katonda nti tewalibba munaigwanga, atali mukomole mu mwoyo era atali mukomole mu mubiri, aliyingira mu watukuvu wange, munaigwanga yenayena yabbanga mu baana ba Isiraeri. 10 Naye Abaleevi abesambira dala, Isiraeri bwe yawabire, abaawabire okunvaaku okusengererya ebifaananyi byabwe; abo balibbaaku obutali butuukirivu bwabwe. 11 Era naye balibba baweererya mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gy'e nyumba, era nga baweerererya mu nyumba; abo be baitiranga abantu ekiweebwayo ekyokyebwa n'e sadaaka, eta bayemereranga mu maiso gaabwe okubaweererya. 12 Kubanga babaweerereryanga mu maiso g'e bifaananyi byabwe ne bafuuka nkonge ey'o butali butuukirivu eri enyumba ya Isiraeri; kyenviire mbayimusiryaku omukono gwange, bw'atumula Mukama Katonda, era balibbaaku obutali butuukirivu bwabwe. 13 So tebalinsemberera okukola omulimu ogw'o bwakabona gye ndi, waire okusemberera ekintu kyonakyona ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu: naye balibbaaku ensoni gyabwe n'e mizizyo gyabwe gye bakolanga. 14 Era naye ndibafuula abakuumi b'e nyumba gye baliragirwa, olw'okuweererya kwamu kwonakwona n'o lwa byonabyona ebirikolebwa omwo. 15 Naye bakabona, Abaleevi, bataane ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagiirwe, abaana ba Isiraeri bwe bawabire okunvaaku, abo niibo balinsemberera okumpeererya; era bemereranga mu maiso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'o musaayi, bw'atumula Mukama Katonda: 16 abo bayingiranga mu watukuvu wange, era basembereranga emeenza yange okumpeererya, era bakuumanga ebyo bye ndibalagira. 17 17 Awo olwatuukanga bwe bayingiranga mu miryango egy'o luya olw'o munda, bavaalanga ebivaalo ebya bafuta; so tewaabbenga byoya bye bavaalanga bwe babbanga nga baweerererya mu miryango egy'o luya olw'o munda no munda. 18 Babbanga n'ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era bavaalanga seruwale egya bafuta mu nkeende gyabwe; tibeesibenga kintu kyonakyona ekituuyanya. 19 Awo bwe bafulumanga mu luya olw'e wamza, mu luya olw'e wanza eri abantu, bayambulanga ebivaalo byabwe bye baweerereryamu, ni babigisa mu nyumba entukuvu, ni bavaala ebivaalo ebindi, balekenga okutukulya abantu n'e bivaalo byabwe. 20 So tebamwanga mitwe gyabwe, so tebakulyanga mivumbo gyabwe; basalanga busali enziiri egy'oku mitwe gyabwe. 21 So n'o kabona yenayena tanywanga mwenge nga bayingira mu luya lw'o munda. 22 So tebakwanga namwandu waire eyabbingiibwe ibaye: naye bakwenga abawala abatamaite musaiza ab'oku izaire ery'e nyumba ya Isiraeri, namwandu eyabbaire muka kabona. 23 Era bayigiriranga abantu bange enjawulo bw'eri ey'ekitukuvu n'ekitali kitukuvu, ne babaawulya ekitali kirongoofu n'e kirongoofu. 24 N'a wali empaka niibo bayemereranga okusala omusango; ng'emisango gyange bwe giri bwe bagisalanga: era bakwatenga amateeka gange n'e biragiro byange mu mbaga gyange gyonagoyna egyalagiirwe; era batukulyenga sabbiiti gyange. 25 So tebasembereranga mufu yenayena okwegwagwawalya: naye olwa itawabwe ba mawabwe oba mutaane waabwe oba muwala waabwe, olwo mugande waabwe oba mwanyoko wabwe atabbanga n'o ibaye, basobola okweyonoona. 26 Awo bw'a malanga okulongoosebwa, bamubalirenga enaku musanvu. 27 Awo ku lunaku lw'e yayingiranga mu watukuvu, mu luya olw'o munda, okuweerererya mu watukuvu, yawangayo ekikye ekiweebwayo olw'e kibbiibi, bw'atumula Mukama Katonda. 28 Era balibba n’o busika; nze ndi busika bwabwe: so temubawanga butaka mu Isiraeri; ninze butaka bwabwe. 29 Baalyanga ekiweebwayo eky'o bwita n'e kiweebwayo olw'e kibbiibi n'e kiweewayo olw'o musango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kyabbanga kyabwe. 30 N'ebisooka ku bibala byonabyona ebiberyeberye ku byonabyona na buli kitone ekya buli kintu ku bitone naimwe byonabyona byabbanga bya bakabona: era mwawanga kabona obwita bwanyu obudyokolebwa obusooka, okutyamisya omukisa ku nyumba yo. 31 Bakabona tibalyanga ku kintu kyonakyona ekifa kyonka waire eyataagwirwe oba nyonyi oba nsolo.