Ensuula 29

1 Mu mwaka ogw'e ikumi mu mwezi ogw'e ikumi ku lunaku olw'o mwezi olw'e ikumi n'eibiri ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2 Mwana w'o muntu, simba amaiso go okwolekera Falaawo kabaka w’e Misiri omulagulireku no ku Misiri yonayona: 3 tumula okobe nti ati bw'a tumula Mukama Katonda nti bona, ndi mulabe wo, Falaawo kabaka w’e Misiri, ogusota ogunene ogugalamira wakati mu mwiga gyagwo, ogutumwire nti omwiga gwange, gwange, era ngwekoleire nzenka. 4 Era nditeeka amalobo mu nsaya gyo, n'e byenyanza eby'o mu miiga gyo ndibikwataganya n'a magamba go; era ndikuniinisya okukutoola wakati mu miiga gyo, wamu n'e byenyanza byonabyona eby'o mu miiga gyo ebikwatagana n'a magamba go. 5 Era ndikuleka ng'o suuliibwe mu idungu, iwe n'e byenyanza byonabyona eby'o mu miiga gyo: oligwa ku itale ewanza; tolikuŋaayizibwa so toliyoolebwa: nkuwaireyo okubba emere eri ensolo egy'o ku nsi n'eri enyonyi egy'omu ibbanga. 6 Kale bonabona abali mu Misiri balimanya nga ninze Mukama, kubanga baabbanga mwigo gwo lugada eri enyumba ya Isiraeri. 7 Bwe bakukwata ku mukono, n'o menyeka n'o yasya ebibega byabwe byonabyona: era bwe beesigama ku iwe, n'o menyeka, n'o yemererya enkende gyabwe gyonagyona. 8 Mukama Katonda kyava atumula ati nti bona, ndikuleetaku ekitala, ni nkumalamu abantu n'e nsolo. 9 N'e nsi y'e Misiri eribba matongo era nsiko; kale balimanya nga ninze Mukama: kubanga atumwire nti omwiga gwange, era ninze nagukolere. 10 Kale, bona, nze ndi mulabe wo, era ndi mulabe w'e miiga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere n'a matongo, okuva ku kigo eky'e Sevene okutuuka n'o ku nsalo ey'e Buwesiyopya. 11 Tiwalibba kigere kyo muntu ekiribitamu so tiwalibba kigere kye nsolo ekiribitamu, so terityamibwamu emyaka ana. 12 Era ndifuula ensi y'e Misiri amatongo wakati mu nsi gyalekeibwewo, n'e bibuga byayo mu bibuga ebizikibwa biribba matongo emyaka ana: era ndisaansaanirya Abamisiri mu mawanga ni mbataataaganyirya mu nsi nyingi. 13 Kubanga ati bw'atumula Mukama Katonda nti emyaka ana nga gibitirewo ndikuŋaanya Abamisiri okubatoola mu mawanga mwe baasaansaanyiziibwe: 14 era ndiiryawo obusibe obw'e Misiri, ne mbairya mu nsi ey'e Pasulo, mu nsi mwe baazaaliirwe; era balibba eyo obwakabaka obwajeezeibwe. 15 Bulisinga obwakabaka bwonabwona okujeezebwa; so tibulyegulumizya ate ku mawanga: era ndibakendeerya, so tibalifuga ate mawanga. 16 So tebulibba ate bwesige bwe nyumba ya Isiraeri, nga bwijukirya obutali butuukirivu, bwe bakebuka okubalingiriira; kale balimanya nga ninze Mukama Katonda. 17 Awo olwatuukire mu mwaka ogw'abiri mu musanvu mu mwezi ogw'oluberyeberye ku lunaku olw'omwezi olw'oluberyeberye ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 18 Mwana w'o muntu, Nebukadduleeza kabaka we Babulooni yatabairye eigye lye olutabaalo olunene okulwanisya Tuulo: buli mutwe ne gubbaaku empata, na buli kibega ne kibambuka: era naye tiyabbaire n'e mpeera, waire egye lye okuva e Tuulo, olw'o lutabaalo lwe yakitabaire. 19 Mukama Katonda kyava atumula ati nti bona, ndiwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni ensi y'e Misiri; era alitwalira dala olufulube lw'a bantu baayo, n'a nyaga omunyago gwamu, n'a nyaga omuyiigo gwamu; era niiyo eribba empeera ey'eigye lye. 20 Muwaire ensi y'e Misiri okubba empeera ye gye yatabaaliire, kubanga baakola omulimu gwange, bw'atumula Mukama Katonda. 21 Ku lunaku olwo ndimererya eiziga enyumba ya Isiraeri, era ndikuwa okwasama omunwa wakati mu ibo; kale balimanya nga ninze Mukama.