1
Era ekigambo kya Mukama kyangiziire nga kitumula nti
2
Mwana w'omuntu, obba wakati mu nyumba eyo enjeemu abalina amaiso ag'okubona so tibabona, abalina amatu ag'okuwulira so tebawulira; kubanga nyumba njeemu.
3
Kale, iwe mwana w'omuntu, weetegekere ebintu eby'obuwaŋangusi, ositule okusenguka misana ibo nga babona; era olisenguka mu kifo kyo n'oira mu kifo ekindi ibo nga babona: koizi balirowooza, waire nga nyumba njeemu.
4
Era olitoolamu ebintu misana ibo nga babona, ng'ebintu eby'obuwaŋangusi: era olivaamu wenka olweigulo ibo nga babona, ng'abantu bwe baviiremu ababbingiibwe ewaabwe.
5
Sima ekisenge ibo nga babona, obityemu ebintu.
6
Bisitulire ku kibega kyo ibo nga babona, obifulumye endikirirya nga ekwaite; olibiika ku maiso go oleke okubona eitakali: kubanga nkutekerewo okubba akabonero eri enyumba ya Isiraeri.
7
Awo ni nkola ntyo nga bwe nalagiirwe: natoiremu ebintu byange misana ng'ebintu eby'obuwaŋangusi, olweigulo ne nsima ekisenge n'omukono gwange; ni mbitoolamu endikirirya nga ekwaite, ne mbisitulira ku kibega kyange ibo nga babona.
8
Awo amakeeri ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti
9
Mwana w'o muntu, enyumba ya Isiraeri, nyumba enjeemu, tebakukobere nti okola ki?
10
Bakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti omugugu guno gwo mulangira w'o mu Yerusaalemi n'enyumba yonayona eya Isiraeri niibo balimu.
11
Tumula nti nze ndi kabonero kanyu: nga bwe nkolere, batyo bwe balikolwa: balibbingibwa ewaabwe okwaba mu busibe.
12
N'omulangira ali mu ibo alisitulira ku kibega kye endikirirya nga ekwaite n'afuluma; balisima mu kisenge okubityamu ebintu okubifulumya: alibiika ku maiso ge, kubanga taribona itakali n'amaiso ge.
13
Era ndimusuulaku ekitimba kyange, era aliteegebwa mu kyambika kyange: era ndimutwala e Babulooni mu nsi ey'Abakaludaaya: era naye talikibona, waire ng'alifiira eyo.
14
Era ndisaansaanirya eri empewo gyonagyona abo bonabona abamwetooloire okumubbeera n'ebibiina bye byonabyona; era ndisowola ekitala ekiribasengererya.
15
Kale balimanya nga ninze Mukama, bwe ndibasaansaanirya mu mawanga ne mbataataaganyirya mu nsi nyingi.
16
Naye ndirekawo ku ibo Abasaiza batono abaliwona ekitala n'enjala n'o kawumpuli; kaisi babulirenga emizizyo gyabwe gyonagyona mu mawanga gye balituuka; kale balimanya nga ninze Mukama.
17
Era ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti
18
Omwana w'omuntu, lya emere yo ng'otengera, onywe amaizi ng'ojugumira era nga weraliikirira; okobe abantu ab'omu nsi, nti
19
Ati bw'atumula Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'e nsi ya Isiraeri nti balirya emere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amaizi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaakyo erekeibwewo byonabyona ebirimu olw'ekyeju ky'abo bonabona abatyamamu.
20
N'ebibuga ebibbeerwamu birizikibwa, n'e nsi eribba matongo; kale mulimanya nga ninze Mukama.
21
Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti
22
Mwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mutumula nti enaku gibitirira, era buli kwolesebwa kugota?
23
Kale bakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ndikomya olugero olwo, so tebalirugera ate mu Isiraeri okubba olugero; naye bakobe nti enaku giri kumpi okutuuka, n'okutuukirirya buli kwolesebwa.
24
Kubanga tewalibbaawo ate kwolesebwa okw'obwereere waire obulaguzi obunyumirirya mu nyumba ya Isiraeri.
25
Kubanga ninze Mukama; nditumula n'ekigambo kye nditumula kirituukirizibwa; tikirirwisibwa ate; kubanga mu naku gyanyu, ai enyumba enjeemu, mwe nditumulira ekigambo, era ndikituukirirya, bw'atumula Mukama Katonda.
26
Ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti
27
Mwana w'omuntu, bona, ab'omu nyumba ya Isiraeri batumula nti Okwolesebwa kw'obona kw'omu naku nyingi egikaali kwiza, era alagula eby'ebiseera ebikaali ewala.
28
Kale bakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Tewalibba ku bigambo byange ebirirwisibwa ate, naye ekigambo kye nditumula kirituukirizibwa, bw'atumula Mukama Katonda.