Ensuula 6
1
Waliwo ekibbiibi kye naboine wansi w'eisana, era kizitoowerera abantu:
2
omuntu Katonda gw'awa obugaiga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emeeme ye ku ebyo byonabyona bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryaku, naye omugeni niiye abirya; ekyo butaliimu, era niiyo ndwaire embiibbi.
3
Omuntu bw'azaala abaana kikumi, n'awangaala emyaka mingi, enaku egy'emyaka gye ne gibba mingi, naye emeeme ye n'eteikuta bisa, era ate n'aboine no kuziikibwa; ntumula ng'omwana wanenge amusinga oyo:
4
kubanga aizira mu butaliimu n'ayabira mu ndikirirya, n'eriina lye libiikibwaku endikirirya;
5
ate tabonanga isana so talimanyanga; ono niiye abba n'okuwummula okusinga oyo:
6
niiwo awo, waire ng'awangaala emyaka lukumi emirundi ibiri, naye n'atasanyukira bisa: bonabona tebaire mu kifo kimu?
7
Okutegana kwonakwona okw'omuntu kubba kwa munwa gwe, era naye okwegomba tekwikuta.
8
Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? oba omwavu alina ki, amaite okutambulira mu maiso g'abalamu?
9
Okubona n'amaiso niikwo kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba: era n’ekyo butaliimu na kusengererya mpewo.
10
Buli ekyabbairewo, eriina lyakyo lyatuumiibwe ira, era kimanyiibwe nga muntu: so tasobola kuwakanya oyo amusinga amaani.
11
Kubanga waliwo ebintu bingi ebyongera ku butaliimu, omuntu yeeyongera ki okugasa?
12
Kubanga yani amaite ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, enaku gyonagyona egy'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekiwolyo? kubanga yani asobola okubuulira omuntu ebyabbanga oluvanyuma lwe wansi w'eisana?