Ensuula 4
1
Awo ne ngirayo ne mbona okujooga kwonakwona kwe bajooga wansi w'eisana: era, bona, amaliga g'abo abajoogebwa, so nga babula abasanyusya; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoogi baabwe, naye nga babula abasanyusya.
2
Kyenaviire ntendereza abafu abaamalire okufa okusinga abalamu abakaali babona;
3
niiwo awo, ne ndowooza okusinga bombiri oyo akaali okubbaawo, atabonanga mulimu mubbiibi ogukolebwa wansi w'eisana.
4
Awo ne mbona okutegana kwonakwona na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa omwinaye eyiyali. Era n'ekyo butaliimu na kusengererya mpewo.
5
Omusirusiru afunya emikono gye, n'alya omubiri gwe iye.
6
Olubatu lumu wamu n'okutereera lusinga embatu eibiri wamu n'okutegana n'okusengererya empewo.
7
Awo ne ngirayo ne mbona obutaliimu wansi w'eisana.
8
Wabbaawo ali omumu, nga abula wo kubiri; niiwo awo, abula omwana waire ow'oluganda: naye okutegana kwe kwonakwona kubulaku we kukoma, so n'amaiso ge tegaikuta bugaiga. Kale nteganira yani, bw'atumula, ne nyima emeeme yange ebisa? Era n'ekyo butaliimu, niiwo awo, kweraliikirira kungi.
9
Babiri basinga omimu; kubanga babba n'empeera ensa olw'okutegana kwabwe.
10
Kubanga bwe bagwa omumu aliyimusya mwinaye: naye gimusangire oyo ali yenka bw'agwa, so nga abula mwimaye amuyimusya.
11
Ate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma: naye omumu asobola atya okubuguma bw'abba yenka?
12
Era omuntu bw'asinga oyo ali yenka, ababiri niibo balimusobola; n'omuguwa ogw'emiyondo eisatu tegutera kukutuka.
13
Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukaire omusirusiru atakaali amaite kubuulirirwa.
14
Kubanga mu ikomera niimwo yaviire okubba kabaka; niiwo awo, no mu bwakabaka bwe yazaaliibwe nga mwavu.
15
Naboine abalamu bonabona abatambulira wansi w'eisana, nga baali wamu n'omulenzi, ow'okubiri, eyayemereire mu kifo kye.
16
Abantu bonabona babulalaku gye bakoma, abo bonabona niibo beyakuliire: naye abo abalibbaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kusengererya mpewo.