Ensuula 1

1 Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekanisa ey'Abasesalonika eri mu Katonda Itawaisu ne Mukama waisu Yesu Kristo: ekisa kibbenga gye muli n'emirembe. 2 Twebalya Katonda ku lwanyu mwenamwena enaku gyonagyona, nga tubatumulaku mu kusaba kwaisu; 3 nga twijukira bulijo omulimu gwanyu ogw'okukwikirirya, n'okufuba okw'okutaka, n'okuguminkiriza okw'eisuubi lya Mukama waisu Yesu Kristo, mu maiso ga Katonda era Itwaisu; 4 nga tumaite, ab'oluganda abatakibwa Katonda, okulondebwa kwanyu, 5 kubanga enjiri yaisu teyaizire gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maani, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumaite bwe twabbaire gye muli ku lwanyu. 6 Mwena ne mutusengererya ife ne Mukama waisu, bwe mwatooleire ekigambo mu kubonaabona okungi, n'eisanyu ery'Omwoyo Omutukuvu; 7 imwe n'okubba ne mubba ekyokuboneraku eri abaikirirya bonabona mu Makedoni ne mu Akaya. 8 Kubanga gye muli niiyo yaviire eidoboozi ly'ekigambo kya Mukama waisu, ti mu Makedoni ne mu Akaya yonka, naye mu buli kifo okwikirirya kwanyu eri Katonda kwabunire; tutyo ne tutabbaaku kigambo kye twetaaga okutumula. 9 Kubanga ibo bonka babuuliire ebyaisu okuyingira kwaisu gye muli bwe kwabbaire; era ne bwe mwakyukiire Katonda okuleka ebifaananyi, okuweereryanga Katonda omulamu ow'amazima, 10 n'okulindiriranga Omwana we okuva mu igulu, gwe yazuukiire mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obwaba okwiza.