Engero Ensuula 9
1
Amagezi gazimbire enyumba yaago, Gatemere empagi gyago musanvu:
2
Gaitire ensolo gyago; gatabwire omwenge gwago; Era gategekere emeenza yaago.
3
Gasindikire abawala baago, gatumulira waigulu. Ku bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu,
4
Nti Buli abula magezi akyamire muno: Oyo abulwa okutegeera gamukomba nti
5
Mwize mulye ku mere yange, Era munywe ku mwenge gwe ntabwire.
6
Mulekenga, imwe ababula magezi, mubbenga abalamu; Era mutambulirenga mu ngira ey'okutegeera.
7
Anenya omukudaali yeeswaza: N'oyo abuulirira omubbiibi yeetonyeryeku eibala.
8
Tokoberanga mukudaali aleke okukukyawa: Koberanga ow'amagezi, yakutakanga.
9
Yegeresyanga ow'amagezi, yeyongeranga okubba n'amagezi: Yegeresyanga omutuukirivu, yeyongeranga okubita.
10
Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: N'okumanya oyo Omutukuvu niikwo okutegeera.
11
Kubanga ku bwange enaku gyo giryongerwa, N’emyaka egy’obulamu bwo girisukirizibwa.
12
Oba nga olina amagezi, weebbeera n’amagezi wenka: Era bw’ewanyoomanga, kulibba ku iwe wenka.
13
Omukali omusirisiru aleekaana; Abula magezi, so Abulaku ky'amaite.
14
Era atyama ku mulyango gw'enyumba ye, Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu,
15
Okweta abo ababitawo, Abakwatira dala amangira gaabwe,
16
Nti Buli abula magezi akyamire muno: N'oyo abulwa okutegeera amukoba nti
17
Amaizi amaibbe niigo agawooma, N'emmere eriirwa mu kyama niiyo esanyusya.
18
Naye tamaite ng'abafu bali yiyo: Ng'abageni niibo bali mu buliba bw'emagombe.