1 Awo Erifaazi Omutemani n'a iramu n'a tumula nti 2 Omuntu asobola okugasa Katonda? Mazima ow'a magezi yeegasa yenka. 3 Kiriku bwe kisanyusa Omuyinza w'e bintu byonabyona iwe okubba omutuukirivu? Oba kimugasa iwe okutuukirirya amangira go? 4 Kubanga omutya kyava akunenya, Kyava asala omusango gwo? 5 Obubbiibi bwo ti bungi? So n'o butali butuukirivu bwo bubulaku gye bukoma. 6 Kubanga watoire ku Mugande wo emisingo egy'o bwereere, n'oyambula ababbaire obwereere ebivaalo byabwe. 7 Tonywisyanga maizi omukoowu, era waama omuyala emere. 8 Naye ow'a maanni niiye yaliire ensi; N'ow'ekitiibwa niiye yagibbairemu. 9 Wasindikire banamwandu nga babula kintu, N'emikono gy'a babula itawabwe gyamenyekere. 10 Obukuniryyo kyebuva bukwetooloola, n'e ntiisya gy'otomanyiriire ekweraliikirirya, 11 Oba endikirirya n'o tosobola kubona, Amaizi amangi ni gakubikaku. 12 Katonda tali mu igulu awagulumizibwa? Era bona emunyeenye bwe gyekankana obugulumivu! 13 Weena otumula nti Katonda amaite ki? Asobola okusala omusango ng'ayema mu ndikirirya ekwaite? 14 Ebireri ebiziyivu bimubiikaku n'o kubona tabona; Era atambulira mu kwekulungirira kw'e igulu. 15 Otaka okukwata engira ey'eira abantu ababbiibi gye baniinirangamu? 16 Abaakwakulibwa entuuko gyabwe nga gikaali kibbaawo, Omusingi gwabwe ni gufukibwa ng'o mwiga: 17 Abakobanga Katonda nti Tuveeku: Era nti Omuyinza w'e bintu byonabyona asobola kutukolera ki? 18 Naye yaizwirye enyumba gyabwe ebisa: Naye okuteesya kw'a babbiibi kundi wala. 19 Abatuukirivu bakibona ni basanyuka; n'abulaku musango abasekerera inu: 20 Ng'atumula nti Mazima abo abatugolokokeireku bamaliibwewo, n'abo abafiikirewo omusyo gubookyerye. 21 Yega obbe n'e mirembe: Otyo bwewabbanga n'ebisa. 22 Nkwegayiriire, ikirirya amateeka eri omunwa gwe, era gisa ebigambo bye mu mwoyo gwo. 23 Bwe wairangawo eri Omuyinza w'e bintu byonabyona, wazimbibwanga; Bwe watolangawo obutali butuukirivu okubba ewala n'e weema gyo. 24 N'oteeka ebibyo eby'obugaiga mu nfuufu, ne zaabu eya Ofiri mu mabbaale ag'o mu bwiga; 25 Kale Omuyinza w'e bintu byonabyona niiye eyabbanga obugaiga bwo, Era yabbanga efeeza y'o muwendo mungi gy'oli. 26 Kubanga lw'e wasanyukiranga Omuyinza w'e bintu byonabyona, Era wayimusanga amaiso go eri Katonda. 27 Wasabanga okusaba kwo eri iye, yeena yakuwuliranga; Era wasasulanga obweyamubwo. 28 Era walagiranga ekigambo ni kinywera gy'oli; n'o musana gwayakiranga amangira go. 29 Bwe bakusuula, watumulanga nti Waliwo okuyimusibwa; Era yalokolanga eyeetoowaza. 30 Yawonyanga n'oyo abba abulaku musango: Niiwo awo, yawonyezebwanga olw'obulongoofu bw'e ngalo gyo.