1 Awo Yobu n'a iramu n'a tumula nti 2 Muwulire inu okutumula kwange; era bino bibbe byo kubasanyusa. 3 Munjikirirye, nzena natumula; Kale nga malire okutumula, mweyongere okuduula. 4 Nze neemulugunya eri abantu? Era ekyandindobeire okwesunaasuna kiki? 5 Muntekeku omwoyo, mwewuunye, era muteeke omukono gwanyu ku munwa gwanyu. 6 Bwe njijukira obwijukiri neeraliikirira, okwesisiwala ne kukwata omubiri gwange. 7 Ababbiibi babbeerera ki abalamu, ni bakairiwa ni babba ba maani mu buyinza? 8 Eizaire lyabwe linywera gye bali ibo nga babona, n'enda yaabwe mu maiso gaabwe. 9 Enyumba gyabwe gibba mirembe awabula kutya, So n'omwigo gwa Katonda tegubabbaaku, 10 Ente yaabwe enume ezaala n'eteiririra; ente yabwe enkali ezaala n'etesowola mwana gwayo. 11 Basindika abaana baabwe abatobato ng'e kisibo, n'a baana baabwe bakina. 12 Bembera ku bitaasa n'e nanga, ni basanyukira eidoboozi ly'o mulere. 13 Bamala enaku gyabwe nga baboine omukisa, mu kaseera ni baika mu magombe. 14 Era naye ni bakoba Katonda nti tuveeku; Kubanga tetwegomba kumanya mangira go. 15 Omuyinza w'e bintu byonabyona niikyo ki, ife tumuweererye? Era bwe twamusabanga kyatugasanga kitya? 16 Bona, omukisa gwabwe tiguli mu mukono gwabwe: Okuteesya kw'a babiibi kundi wala. 17 Etabaaza y'a babbiibi elikiribwa emirundi imeka? N'o bwinike bwabwe bubatuukaku emirundi imeka? Katonda agaba enaku mu busungu bwe emirundi imeka? 18 Baba ng'e bisasiro ebitwalibwa n'e mpewo, Era ng'e bisusunku embuyaga bye gitwala emirundi imeka? 19 Mutumula nti Katonda agisira abaana be obutali butuukirivu bwe. Abasasule iye mwene abumanye. 20 Amaiso ge gabone okuzikirira kwe iye, Era anywe ku busungu bw'Omuyinza w'e bintu byonabyona. 21 Kubanga asanyukira atya enyumba ye emwiririra, omuwendo gw'e myezi gye nga gutuukire wakati? 22 Waliwo eyayegeresyanga Katonda okumanya? Kubanga asalira abo omusango abagulumizibwa. 23 Wabbaawo omumu afa ng'alina amaani ge gonagona, ng'aweereireweereire dala ng'atereire: 24 Amabeere ge gaizwire amata, n'o busomyo obw'a magumba ge nga bubisi. 25 N'ogonda afa omwoyo gwe nga gumubalagala, So taleganga ku bisa. 26 Bombiri bagalamira mu nfuufu, amagino n'e babiikaku. 27 Bona, maite ebirowoozo byanyu, N'e nkwe gye munsalira obubbiibi. 28 Kubanga mutumula nti enyumba y'o mukungu eri waina? Era nti eweema ababbiibi mwe babba eri waina? 29 Timwababuulya abatambulira mu ngira? Era temumaite bubonero bwabwe? 30 Ng'o muntu omubbiibi agisirwa olunaku olw'okuboneraku enaku? Nga batwalibwa eri olunaku olw'obusungu? 31 Yani eyakoberanga engira ye mu maiso ge? Era yani eyamusasulanga bye yakolere? 32 Yeena yatwalibwanga mu magombe, era yakuumanga amagombe. 33 Amafunfugu ag'o mu kiwonvu gamuwoomeranga, n'abantu bonabona bawalulwanga enyuma we, nga bwe baamutangira abataboneka. 34 Kale munsanyusirye mutya obwereere, Kubanga mu kwiramu kwanyu musigairemu obubbeyi bwereere?