1
Era ekigambo kya Mukama ne kiiza gye ndi nga kitumula nti
2
Tokwanga mukali, so tozaalira baana bo bwisuka waire ab'obuwala mu kifo kino.
3
Kubanga Mukama bw'atumula ati eby'abaana ab'obwisuka n'ab'obuwala abazaaliirwe mu kifo kino n'ebya bamawabwe ababazaire n'ebya baitawabwe ababazaaliire mu nsi muno, nti
4
Balifa kubbiibi; tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; balibba ng'obusa ku maiso g'eitakali: era balimalibwawo n'ekitala n'enjala n'emirambo gyabwe giribba mere ye nyonyi egy'omu ibbanga era ye nsolo egy'omu nsi.
5
Kubanga ati bw'atumula Mukama nti toyingira mu nyumba mwe bakungubagira, so toyaba kukubba biwoobe, so tobakungira: kubanga ntoire emirembe gyange ku bantu bano, bw'atumula Mukama, mbatoireku ekisa n'okusaasira okusa.
6
Abakulu era n'abatobato balifiira mu nsi eno: tibaliziikibwa so n'abantu tibalibakungubagira, so tibalyesala so tibalibeemwerera:
7
so abantu tibalibamegera mere nga babakungira, okubakubbagizya olw'abafu; so abantu tebalibawa kikompe kyo kusanyusa okunywa olwa itawabwe oba olwa mawabwe.
8
So toliyingira mu nyumba mwe baliira embaga, okutyama nabo, okulya n'okunywa.
9
Kubanga ati bw'atumula Mukama w'eigye, Katonda wa Isiraeri, nti bona, ndikomya mu kifo kino mu maiso ganyu naimwe nga mukaali balamu, eidoboozi ery'ebinyumu n'eidoboozi ery'okusanyuka, eidoboozi ery'akwa omugole n'eidoboozi ly'omugole.
10
Awo olulituuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonabyona, ibo ne bakukoba nti Kiki ekitumwirye Mukama obubbiibi buno bwonabwona obunene eri ife? oba atulanga ki? oba kyonoono ki kye twonoonere Mukama Katonda waisu?
11
kale kaisi N'obakoba nti Kubanga Bazeiza banyu banvireku, bw'atumula Mukama, ne batambula okusengererya bakatonda abandi ne babaweererya ne babasinza ne bava ku nze, so tebakwaite mateeka gange;
12
Mwena mwakolere kubbiibi okusinga bazeiza banyu; kubanga, bona, mutambula buli muntu ng'obukakanyali bw'omwoyo gwe omubbiibi bwe buli n'okuwulira ne mutampulira
13
kyendiva mbabbiinga mu nsi eno okwaba mu nsi gye mutamanyanga, imwe waire bazeiza banyu; era mwaweerereryanga eyo bakatonda abandi emisana n'obwire; kubanga tindibalaga kisa n'akadiidiiri.
14
Kale, bona, enaku giiza, bw'atumula Mukama, lwe batakaali batumula nti nga Mukama bw'ali omulamu eyatire abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;
15
naye nti nga Mukama bw'ali omulamu eyatire abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiika obugooda n'o mu matwale gonagona gye yabbaire ababbingiire: era ndibairyawo mu nsi y'ewaabwe gye nawaire bazeiza babwe.
16
Bona, nditumya abavubi bangi, bw'atumula Mukama, era balibavuba; oluvanyuma nditumya abayigi bangi, era balibayiga okubatoola ku buli lusozi na ku buli kasozi, ne mu biina eby'omu mabbaale.
17
Kubanga amaiso gange galingirira amangira gaabwe gonagona: tegagisibwa bweni bwange, so n'obutali butuukirivu bwabwe tebugisibwa maiso gange.
18
Era okusooka ndisasula obutali butuukirivu bwabwe n'ekibbiibi kyabwe emirundi ibiri; kubanga bayonoonere ensi yange n'emirambo egy'ebintu byabwe eby'ebiive, era baizwirye obusika bwange emizizo gyabwe.
19
Ai Mukama, amaani gange era ekigo kyange, era obwirukiro bwange ku naku olw'okuboneramu enaku, eri iwe amawanga gye galiiza nga bava ku nkomerero gy'ensi, era balitumula nti bazeiza baisu basikiire bubbeyi bwereere, nfeera n'ebigambo ebibulaku kye bigasa.
20
Omuntu alyekolera bakatonda, era abatali bakatonda?
21
Kale, bona, ndibamanyisya, omulundi guno gwonka ndibamanyisya omukono gwange n'amaani gange; era balimanya ng'e riina lyange Yakuwa.