1
No malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'ayambuka e Bokimu. N'atumula nti Nabaniinisya okuva mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nalayiriire bazeiza banyu; ni ntumula nti tindireka ndagaanu yange (gye nalagaine) na imwe:
2
mwena timulagaananga ndagaanu n'abo abatyama mu nsi muno; mumenyemenyenga ebyoto byabwe: naye imwe timwawuliire eidoboozi lyange: kiki ekibakozesya mutyo?
3
Nzena kyenaviire ntumula nti Tinababbingenga mu maiso ganyu; naye babbanga ng’a mawa mu mpete gyanyu, n'a bakatonda baabwe babbanga kyambika gye muli.
4
Awo olwatuukire malayika wa Mukama bwe yakobere ebigambo ebyo abaana ba Isiraeri, abantu ni bayimusya eidoboozi lyabwe, ne bakunga amaliga.
5
Ekifo ekyo ni bakituuma eriina Bokimu: ni baweera eyo sadaaka eri Mukama.
6
Awo Yoswa bwe yamalire okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ni baaba buli muntu mu busika bwe okulya ensi.
7
Abantu ni baweereryanga Mukama enaku gyonagyona egya Yoswa, n'e naku gyonagyona egy'a bakaire, abawangaala okusinga Yoswa, ababoine omulimu gwonagwona ogwa Mukama omunene gwe yakoleire Isiraeri.
8
Yoswa omwana wa Nuni, omwidu wa Mukama n’afa, nga yaakamala emyaka kikumi na ikumi.
9
Ni bamuziika mu nsalo y'o busika bwe mu Timunasukeresi, mu nsi y'Efulayimu ey'e nsozi ku bukiika obugooda obw'o lusozi Gaasi.
10
Era n'a b'e mirembe egyo bonabona ni bakuŋaanyizibwa eri bazeiza babwe: ne wabbaawo emirembe egindi egibairirira, abatamaite Mukama, waire omulimu gwe yakoleire Isiraeri.
11
Abaana ba Isiraeri ni bakola ekyabbaire mu maiso ga Mukama ekibbiibi, ni baweererya Babaali:
12
Mukama ne bamuvaaku, Katonda wa bazeiza babwe, eyabatoire mu nsi y'e Misiri, ni basengererya bakatonda abandi, ku bakatonda ab'a mawanga agabeetooloola, ni babavuunamira, ne basunguwalya Mukama.
13
Mukama ne bamuvaaku, ni baweererya Baali ne Asutaloosi.
14
Obusungu bwa Mukama ni bubuubuuka ku Isiraeri, n'a bagabula mu mikono gy'a banyagi abaabanyagire, n'a batunda mu mikono gy'a balabe baabwe okwetooloola, n'o kusobola ni batasobola ate kwemerera mu maiso g'abalabe baabwe.
15
Gye baatabaalanga yonayona, omukono gwa Mukama ni gubaleeteranga akabbiibi, nga Mukama bwe yatumwire; era nga Mukama bwe yabalayiriire: ne beeraliikirira inu.
16
Mukama n'a yimusya abalamuli abaabalokolanga mu mukono gwabo abaabanyaganga.
17
Naye ne batawulira balamuli baabwe, kubanga baabire nga beenda nga basengererya bakatonda abandi, ne babavuunamira: bakyamire mangu okuva mu ngira bazeiza babwe gye batambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; ibo tebakoleire batyo.
18
Era Mukama bwe yabayimusiryanga abalamuli, Mukama n'abbanga n'o mulamuli, n’a balokolanga mu mukono gw'a balabe baabwe enaku gyonagyona egy'o mulamuli: kubanga Mukama ni yejusa olw'o kusinda kwabwe olw'abo abaabajooganga ni baberaliikiriirya.
19
Naye olwatuukire, omulamuli bwe yamalanga okufa, ni bairanga enyuma, ni bakola obubbiibi okusinga bazeiza babwe, nga basengerererya bakatonda abandi okubaweererya n'o kubavuunamira; tebakendeeryanga ku bikolwa byabwe so tebaalekanga ngira yabwe nkakanyavu.
20
Obusungu bwa Mukama ni bubuubuuka ku Isiraeri: n'atumula nti Kubanga: eigwanga lino lisoberye ku ndagaanu gye nalagiire bazeiza babwe, so tebawuliire eidoboozi lyange;
21
nzena okusooka watyanu kyenaavanga ndeka okubiinga mu maiso gaabwe ku mawanga Yoswa ge yafiikiryewo bwe yafiire:
22
kaisi nkeme Isiraeri olw'abo oba nga bakwatanga engira ya Mukama okugitambulirangamu, nga bazeiza babwe bwe bagikwaite, oba ti niiwo awo.
23
Awo Mukama n'aleka amawanga gadi, obutababbinga mangu; so teyabagabwire mu mukono gwa Yoswa.