Ensuula 35

1 Olukoola n'amatongo birijaguza; n'eidungu lirisanyuka, lirisansula ng'ekifungeja. 2 Lirisuukirirya okusansula, lirisanyuka n'eisanyu n'okwemba; ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa, obusa obungi obwa Kalumeeri ne Saloni: balibona ekitiibwa kya Mukama, obusa obungi obwa Katonda waisu. 3 Munyweze emikono eminafu, mukakasye n'amakumbo agajugumira. 4 Mukobe abo abalina omwoyo omuti nti Mubbe n'amaani, temutya: bona Katonda wanyu aliiza n'okuwalana eigwanga, n'empeera ya Katonda; aliiza n'abalokola. 5 Awo amaiso g'omuzibe w'amaiso kaisi ne gazibuka, n'amatu g'omwigali w'amatu galiiguka. 6 Awo awenyera kaisi n'abuuka ng'enangaazi, n'olulimi lwa kasiru lulyemba: kubanga amaizi galitiiriikira mu lukoola, n'emiiga mu idungu. 7 N'omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n'eitakali eikalanguki ensulo gya maizi: mu kifo eky'ebibbe mwe byagalamiranga, mulibba omwido n'eisaalu n'ebitoogo. 8 Era eribbaayo oluguudo, n"engira, era eryetebwa nti ngira y'o butukuvu; abatali balongoofu tebaligibitamu; naye eribba ya badi: abatambuli, niiwo awo abasirusiru, tebaliriwabiramu. 9 Teribbaayo mpologoma, so tekuliniinaku nsolo yonayona ey'amairu, tegiribonekayo; naye abaanunuliibwe be baligiitambuliramu: 10 n'aba Mukama abaguliibwe baliirawo, ne baiza e Sayuuni nga bemba; n'eisanyu eritaliwaawo liribba ku mitwe gyabwe: balifuna eisanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda kuliirukira dala.