Ensuula 34

1 Musembere, imwe amawanga, okuwulira; era muwulisisye, imwe abantu: ensi ewulire n'okwijulula kwayo; eitakali n'ebintu byonabyona ebirivaamu. 2 Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonagona, n'ekiruyi ku igye lyabwe lyonalyona: abazikiririrya dala, abagabwire okwitibwa. 3 Era abaabwe abaitibwa balisuulibwa ewanza, n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiriniina, n'ensozi girisaanuuka olw'omusaayi gwabwe. 4 N'eigye lyonalyona ery'omu igulu liryabulukuka, n'eigulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula: n'eigye lyalyo lyonayona liriyongobera, ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini. 5 Kubanga ekitala kyange kinyweire okwikuta mu igulu: bona, kirigwa ku Edomu, n'o ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango. 6 Ekitala kya Mukama kizwiire omusaayi, kisavuwaire n'amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'entama n'embuli, n'amasavu ag'ensigo g'entama enume: kubanga Mukama alina sadaaka e Bozula, n'okwita abangi mu nsi ya Edomu. 7 N'embogo giriserengeta wamu nagyo, n'ente wamu ne gisedume; n'ensi yaabwe eritamiira omusaayi, n'enfuufu yaabwe erisavuwala n'amasavu. 8 Kubanga niilwo lunaku olw'okuwalana eigwanga lya Mukama, omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka gye Sayuuni. 9 N'emiiga gyayo girifuuka bulimbo, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka bulimbo obwaka. 10 Terizikizibwa misana waire obwire; omwoka gwayo gwnyookanga enaku gyonagyona: emirembe n'emirembe yabbanga awo ng'ezikire; tewaabenga eyagibitangamu emirembe n'emirembe. 11 Naye eibbuusi n'o musegese niibo babbanga beene baayo; n'ekiwugulu ne namuŋoona niibo batyamanga omwo: era aligireegaku omuguwa ogw'okwetabula, n'amabbaale agatereeza ag'obutaliimu. 12 Balyeta abakungu baayo okwiza mu bwakabaka, naye tewalibba alibbaayo; n'abalangira baayo bonabona balibba ti kintu. 13 N'amawa galimera mu manyumba gaayo, emifuuwanduzi n'amiwa mu bigo byayo: era yabbanga nyumba ye bibbe, luya lwa bamaaya. 14 N'ensolo endalu egy'omu idungu girisisinkana n'emisege, n'eya gigeye eribitirirya giinaaye; niiwo awo, enyonyi ey'obwire erigwa eyo, ne yeerabira ekiwumulo. 15 Eyo ekufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋaanya wansi w'ekiwolyo kyalyo: niiwo awo, eyo amakoli niigo galikuŋaanira, buli limu wamu ne liinaye. 16 Musagire mu kitabo kya Mukama musome: tekuligota ku ebyo ne kimu, tewalibba ekiribulwa kiinaakyo: kubanga omunwa gwange niigwo gulagiire, n'omwoyo gwe gwe gubikuŋaanyirye. 17 Era abikubbiire obululu, n'omukono gwe gubigabiire n'omuguwa: byagiryanga enaku gyonagyona, emirembe n'emirembe byatyamanga omwo.