Ensuula 31
1
Gibasangire abo abaserengeta e Misiri okubbeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maani mangi; naye tebalingirira Mutukuvu wa Isiraeri so tebasagira Mukama!
2
Naye era yena wa magezi, era alireeta obubbiibi, so taliiryawo bigambo bye: naye aligolokokera ku nyumba y'abo abakola obubbiibi n'o ku buyambi bw'abo abakola ebitali by'o butuukirivu.
3
Kale Abamisiri bantu buntu so ti Katonda; n'embalaasi gyabwe mubiri bubiri so ti mwoyo: era Mukama bw'aligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesiitala era n'oyo ayambibwa aligwa, kale bonabona baliweerawo wamu.
4
Kubanga atyo Mukama bw'akoba nti ng'empologoma bw'ewulugumira ku muyiigo gwayo n'empologoma entonto, abasumba abangi bwe beetebwa okugirumba, teritiisibwa ne idoboozi lyabwe, so teryetoowaza lwo kuyoogaana kwabwe: atyo Mukama ow'eigye bw'aliika okulwanira ku lusozi Sayuuni n'o ku kasozi kaaku.
5
Ng'enyonyi egibuuka, atyo Mukama ow'eigye bweyakuumanga Yerusaalemi; yakikuumanga n'akiwonya, alibitaku n'akirokola.
6
Mukyukire oyo gwe mwajeemereire dala, imwe abaana ba Isiraeri.
7
Kubanga ku lunaku ludi balisuulira dala buli muntu ebifaananyi bye eby'e feeza, n'ebifaananyi bye ebye zaabu, engalo gyanyu imwe bye gyabakoleire okubba ekibbiibi.
8
Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali kya bantu; n'ekitala ekitali kya bantu kirimulya: era aliiruka ekitala, n'abavubuka be balifuuka musolo.
9
N'olwazi lwe lulivaawo olw'okwesisiwala, n'abakulu be balikeŋentererwa olw'ebendera, bw'atumula Mukama, omusyo gwe guli ku Sayuuni n'ekikoomi kye mu Yerusaalemi.