Ensuula 16
1
Muweererye abaana b'entama b'oyo afuga ensi okuva e Seera ekiringiriire eidungu okutuuka ku lusozi lwo muwala wa Sayuuni.
2
Kubanga olulituuka ng'enyonyi egyagotere ng'ekisu ekyasaansaanire batyo bwe balibba bawala ba Mowaabu ku misomoko gya Alunoni.
3
Teesya ebigambo, mala omusango; fuula ekiwolyo kyo okubba ng'obwire wakati mu iwango: gisa ababbingiibwe; tolyamu lukwe adaagana.
4
Abange ababbingiibwe batyame naiwe; Mowaabu, bba kiirukiro gy'ali mu maiso g'omunyagi: kubanga omukanga azikiriire, okunyaga kuweire, abajoogi bakomere mu nsi.
5
N'entebe ey'obwakabaka yanywezebwanga mu kusaasira, era walibbaawo aligityamaku mu mazima, mu weema ya Dawudi; ng'asala emisango, era ng'asengererya eby'ensonga, era omwangu okukolanga eby'obutuukirivu.
6
Tuwuliire amalala ga Mowaabu, nga wa malala mangi einu; ekyeju kye n'amalala ge n'obusungu bwe; okwenyumirirya kwe kubulamu.
7
Mowaabu kyaliva awowoganira Mowaabu, buli muntu aliwowogana: mulinakuwalira emigaati egy'e izabbibu egy'e Kirukaleseesi, nga mukubbiibwe dala.
8
Kubanga enimiro egy'e Kesubooni giwotoka, n'omuzabbibu ogw'e Sibuma; abakungu ab'amawanga bamenyeire dala emisaale gyagwo egyasingire obusa; gyabunire okutuuka e Yazeri, gyatuukire mu idungu; amatabi gaagwo gaalanda, gaasomoka enyanza.
9
Kyenaava nkungira amaliga awamu n'okukunga kwa Yazeri olw'omuzabbibu ogw'e Sibuma: nakufukirira amaizi n'amaliga gange, iwe Kesubooni ne Ereyale: kubanga ku bibala byo eby'ekyengera no ku bikungulwa byo kukubbiibweku olube.
10
N'eisanyu litooleibwewo, n'emizira giweire mu nimiro enjimu; n'o mu nsuku gy'emizabbibu temulibba kwemba, waire eidoboozi ery'okusanyuka: tewalibba musogoli alisogolera omwenge mu masogolero; nkomerye emizira gy'abasogoli.
11
Ebyenda byange kyebiva bikungira Mowaabu ng'enanga, n'o munda mwange mukungira Kirukeresi.
12
Awo olulituuka, Mowaabu bw'alyeyanjula, bw'alyekooya ku kifo ekigulumivu, n'aiza mu watukuvu we okusaba, talisobola.
13
Ekyo niikyo kigambo Mukama kye yatumwire ku Mowaabu mu biseera eby'eira.
14
Naye atyanu Mukama atumwire nti Emyaka isatu nga gikaali kuwaaku, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibba, ekitiibwa kye Mowaabu kirinyoomebwa awamu n'ekibiina kye kyonakyona ekinene; n'abo abalifikkawo baliba batono inu so tebalibba kintu.