Ensuula 15
1
Omugugu gwe Mowaabu. Kubanga mu bwire bumu Ali ekye Mowaabu bakizikirye, bakimalirewo; kubanga mu bwire bumu budi obwa Mowaabu bakizikirye, bakimalirewo.
2
Ayambukire e Bayisi ne Diboni, ku bifo ebigulumivu, okukunga amaliga: Mowaabu awowoganira Nebo n'e Medeba: ku mitwe gyabwe gyonagyna kuliku empaata, buli kirevu kimwereibwe.
3
Beesibira ebinyakinyaki mu nguudo gyabwe: waigulu ku nyumba gyabwe n'o mu mbuga gyabwe buli muntu awowogana, ng'akunga inu amaliga.
4
Ne Kesuboni alira, ne Ereyale; eidoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi: basirikale be Mowaabu kyebava batumulira waigulu; obulamu bwe butengera mu nda mu iye.
5
Omwoyo gwange gukungira Mowaabu; abakungu be bairukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya: kubanga awayambukirwa e Lukisi niiyo gye baniinira nga bakunga amaliga; kubanga bakungira mu nigra ey'e Kolonayimu okukunga okw'okuzikirira.
6
Kubanga amaizi ag'e Nimulimu galirekebwawo: kubanga omwido guwotokeire dala, omwido omugondi guwaawo, wabula kintu kimera.
7
Ebintu ebingi bye bafunire n'ebyo bye bagisire kyebaliva babitwala eri omwiga ogw'enzingu.
8
Kubanga okukunga kwetooloire ensalo gye Mowaabu; okuwowogana kwakwo kutuukire e Yegulayimu, n'okuwowogana kwakwo kutuukire e Beererimu.
9
Kubanga amaizi ag'e Dimoni gaizwire omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala ate ku Dimoni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, n'o ku abo abalifiikawo ku nsi.