Okuva Ensuula 37

1 Bezaaleeri n'akola esanduuku ey'omusaale gwa sita: obuwanvu bwayo bwabbaire emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu: 2 n'agibiikaku zaabu ensa munda no kungulu, n'agikolera engule eye zaabu okwetooloola. 3 N'agifumbira empeta ina egye zaabu, mu magulu gaayo ana; empeta ibiri ku lumpete lwayo olumu, n'empeta ibiri ku lumpete lwayo olw'okubiri. 4 N'akola emisituliro egy'omusaale gwa sita, n'agibiikaku zaabu. 5 N'ayingirya emisituliro mu mpeta ku mpete ez'esanduuku, okusitula esanduuku. 6 N'akola entebe ey'okusaasira eya zaabu ensa: obuwanvu bwayo emikono ibiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu. 7 N'akola bakerubi babiri abe zaabu; yabakolere n'eyaweeseibwe, ku nsonda ibiri egy'entebe ey'okusaasira; 8 kerubi omumu ku nsonda eyo, no kerubi omumu ku nsonda eyo: yakolere bakerubi mu kitundu eky'entebe ey'okusaasira ku nsonda gyayo eibiri. 9 No bakerubi bagoloire ebiwawa byabwe waigulu, nga bayanjaire ku ntebe ey'okusaasira ebiwawa byabwe, nga babonagana amaiso gaabwe; amaaso ga bakerubi balingiriire entebe ey'okusaasira. 10 N'akola emeenza ey'omusaale gwa sita: obuwanvu bwayo emikono ibiri, n'obugazi bwayo omukono gumu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu: 11 n'agibiikaku zaabu ensa, n'agikolaku engule eye zaabu okwetooloola. 12 N'agikolaku olukugiro olw'oluta okwetooloola, n'alukolera olukugiro lwayo engule eye zaabu okwetooloola. 13 N'agifumbira empeta ina egye zaabu, n'ateeka empeta ku nsonda eina egiri ku magulu gaayo ana. 14 Kumpi n'olukugiro we gyabbaire empeta, ebifo eby'emisituliro gisitulenga emeenza. 15 N'akola emisituliro egy'omusaale gwe sita, n'agibiikaku zaabu, okusitulanga emeenza. 16 N'akola ebintu ebyabbanga ku meenza, esaani gyayo, n'ebijiiko byayo, n'ebibya byayo, n'ensuwa gyayo, okufuka nabyo, ne zaabu ensa. 17 N'akola ekikondo ekye zaabu ensa: yakolere ekikondo n'eyaweeseibwe, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo byabbaire bye zaabu imu nakyo: 18 era amatabi mukaaga gaviire ku mpete gyakyo; amatabi masatu ag'ekikondo gaviire ku lumpete lwakyo olumu, n'amatabi masatu eg'ekikondo gaviire ku lumpete lwakyo olw'okubiri: 19 ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu itabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu itabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli: bwe kityo mu matabi mukaaga agaava ku kikondo. 20 Ne mu kikondo mwabbairemu ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyabyo n'ebimuli byabyo: 21 n'omutwe gwabbaire wansi w'amatabi mabiri age zaabu eimu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi mabiri age zaabu eimu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi mabiri age zaabu eimu nagwo, mu matabi omukaaga agakiviirku. 22 Emitwe gyabyo n'amatabi gaabyo byabbaire bye zaabu eimu nakyo: kyonakyona kyabbaire mulimu muweese gumu ogwe zaabu ensa. 23 N'akola eby'etabaaza byakyo, omusanvu, ne makansi waakyo, n'esaani gyakyo egy'ebisiriirya, ne zaabu ensa 24 Yakikolere ne talanta eya zaabu ensa, n'ebintu byakyo byonabyona. 25 N'akola ekyoto eky'okwotereryangaku obubbaane eky'omusaale gwa sita : obuwanvu bwakyo bwabbaire mukono, n'obugazi bwakyo mukono, okwekankana enjuyi gynagyona; n'obugulumivu bwakyo bwabbaire emikono ibiri; amaziga gaakyo gabbaire go musaale gumu nakyo. 26 N'akibiikaku zaabu ensa, waigulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amaziga gaakyo: n'akikolako engule eye zaabu okwetooloola. 27 N'akikolaku empeta ibiri egya zaabu wansi w'engule yakyo, mu mpete gyakyo gyombiri, ku njuyi gyakyo gyombiri, okuba ebifo eby'emisituliro okukisitulirangaku. 28 N'akola emisituliro n'omuti gwa sita, n'agibiikaku zaabu. 29 N'akola amafuta amatukuvu ag'okufukangaku, n'obubaane obulongoofu obw'ebyakaloosa ebiwoomereri, ng'amagezi ag'omukozi w'omusita bwe gwabbaire.