Ensuula 15
1
Buli myaka omusanvu bwe giwangaku, wasumululanga.
2
Era eno niiyo ngeri y'o kusumulula okwo: buli abanja yasumululanga ekyo kye yakopere muliraanwa we; takibanjanga muliraanwa we era mugande we; kubanga okusumulula kwa Mukama nga kulangiibwe.
3
Munaigwanga osobola okukimubanja: naye ekintu kyonakyona ku bibyo ekiri n'o mugande wo omukono gwo gwakisumululanga.
4
Naye ti waabbenga baavu gy'oli, (kubanga Mukama taalekenga kukuwa mukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'a kuwa okubba obusika okugirya;)
5
Kyooka bwe wanyiikiranga okuwulira eidoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwatanga okukolanga ekiragiro kino kyonakyona kye nkulagira watyanu.
6
Kubanga Mukama Katonda wo yakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubizirye: era wawolanga amawanga mangi, naye ti weewolenga; era wafuganga amawanga mangi, naye ti baakufugenga iwe.
7
Bwe wabbbanga gy'oli omwavu, omumu ku bagande bo, munda w'o lwigi lwonalwona ku njigi gyo mu nsi Mukama Katonda wo gy'a kuwa, tokakanyalyanga mwoyo gwo, so tofunyanga ngalo gyo eri mugande wo omwavu:
8
naye tolekanga kwanjululya ngalo gyo gy'ali, so tolekanga kumuwola ebyamumalanga olw'o kwetaaga kwe mu ekyo ky'a buliirwe.
9
Weekuumenga waleke okubbaawo mu mwoyo gwo ekirowoozo ekiimu, ng'o tumula nti omwaka ogw'o musanvu, omwaka ogusumululirwamu, guli kumpi okutuuka; eriiso lyo ni libba ibbiibi eri mugande wo omwavu, n'o tomuwa kintu; n'a koowoola Mukama ng'a kuwabira, ni kibba kibbiibi gy'oli.
10
Tolekanga kumuwa, so n'o mwoyo gwo ti gunakuwalanga bw'o muwa: kubanga olw'e kigambo ekyo Mukama Katonda wo kye yavanga akuwa omukisa mu mulimu gwo gwonagwona ne mu byonabyona byewateekangaku omukono gwo.
11
Kubanga abaavu tebaliwaawo mu nsi enaku gyonagyona: kyenva nkulagira nga ntumula nti Tolekanga kwanjululya ngalo gyo eri mugande wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo.
12
Bwe bakugulyanga mugande wo, omusaiza Omwebbulaniya oba mukali Omwebbulaniya, n'a mala emyaka mukaaga ng'a kuweererya; mu mwaka ogw'o musanvu kaisi omulekuliranga dala okukuvaaku.
13
Era bwe wamulekuliranga dala okukuvaaku, tomulekulanga nga abula kintu:
14
wamuboneranga ebingi ku mbuli gyo n'o ku iguliro lyo n'o ku isogolero lyo: nga Mukama Katonda wo bwe yakuwaire omukisa, bwewamuwanga otyo.
15
Era waijukiranga nga wabbaire mwidu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'a kununula: kyenva nkulagira ekigambo ekyo atyanu.
16
Awo olwatuukanga bw'e yakukobanga nti Ti nafulume kukuleka; kubanga akutaka iwe n'a b'o mu nyumba yo, kubanga abona ebisa ewuwo;
17
Kaisi n'o iriranga olukato, n'o lubitya mu kitu kye n'o kwatisya n'o lwigi, naye yabbanga mwidu wo enaku gyonagyona. Era n'o muzaana wo bwewamukolanga otyo.
18
Tolowoozanga nga kizibu bwewamulekuliranga dala okukuvaaku; kubanga yakuweerereirye emyaka mukaaga okusinga emirundi ibiri oyo aweerererya empeera: era Mukama Katonda wo yakuwanga omukisa mu byonabyona by'o kola.
19
Ebiberyeberye byonabyona ebisaiza ente gyo n'e mbuli gyo bye gyazaalanga watukulyanga eri Mukama Katonda wo: tokozesyanga mulimu gwonagwona kibereberye kye nte yo, so tosalanga byoya bye kiberyeberye kye mbuli gyo.
20
Wakiriiranga mu maiso ga Mukama Katonda wo buli mwaka mu kifo Mukama ky'a lyeroboza, iwe n'a b'o mu nyumba yo.
21
Era bwe kyabbangaku obuleme bwonabwona, bwe kyawenyeranga oba bwe kyabbanga ekiwofu ky'a maiso, obuleme bwonabwona obutali busa; tokiwangayo eri Mukama Katonda wo.
22
Wakiriiranga munda mw'e njigi gyo: abatali balongoofu n'a balongoofu bakiryanga okwekankana, ng'e mpuuli era ng'e njaza.
23
Kyooka tolyanga musaayi gwakyo; wagufukanga ku itakali ng'a maizi. Essuula