Ensuula 14
1
Kiramu kabaka w'e Tuulo n'atuma ababaka eri Dawudi n'e mivule n'a bazimbi b'a mabbaale n'a babaizi, okumuzimbira enyumba.
2
Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezerye okubba kabaka wa Isiraeri, kubanga obwakabaka bwe bwagulumiziibwe waigulu, olw'a bantu be Isiraeri.
3
Awo Dawudi ni yeeyongera okukwa abakali e Yerusaalemi: Dawudi ne yeeyongera okuzaala abaana ab'o bwisuka n'a b'o buwala.
4
Era gano niigo maina g'a baana be yazaaliire e Yerusaalemi; Samuwa n'o Sobabu, Nasani n'o Sulemaani;
5
n'o Ibukali n'o Eriswa n'o Erupereti;
6
n'o Noga n'o Nefegi n'o Yafiya;
7
n'o Erisaama n'o Beeriyadda n'o Erifereti.
8
Awo Abafirisuuti bwe baawuliire Dawudi ng'afukiibweku amafuta okubba kabaka wa Isiraeri yenayena, Abafirisuuti bonabona ne bambuka okusagira Dawudi: Dawudi n'akiwulira, n'abatabaala.
9
Era Abafirisuuti babbaire baizire ne bazinda ekiwonvu Lefayimu.
10
Dawudi n'a buulya Katonda ng'a tumula nti ntabaale Abafirisuuti? era wabagabula mu mukono gwange? Mukama n'amukoba nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo.
11
Awo ni batabaala e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubbira eyo; Dawudi n'atumula nti Katonda amenyere abalabe bange n'o mukono gwange, ng'a maizi bwe gamenyeka. Ekifo ekyo kyebaaviire bakituuma eriina Baaluperazimu.
12
Ni baleka eyo bakatonda baabwe; Dawudi n'alagira ni babookya omusyo.
13
Abafirisuuti ne bazinda ekiwonvu ate olw'o kubiri.
14
Dawudi n'abuulya ate Katonda; Katonda n'a mukoba nti Totabaala okubasengererya: kyuka obaveeku, obatuukeku ng'a bafuluma mu maiso g'e mitugunda.
15
Awo olwatuuka bwewawulira eidoboozi ery'okutambula ku masanso g'e mitugunda, kaisi n'otabaala: kubanga Katonda atabaire okukutangira okukubba eigye ery'Abafirisuuti.
16
Dawudi n'akola nga Katonda bwe yamulagiire: ni bakubba eigye ery'Abafirisuuti okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.
17
Eitutumu lya Dawudi ni libuna ensi gyonagyona; Mukama n'aleeta entiisya ye ku mawanga gonagona.