Essula 8

1 Naye okwe ebyo ebiwebwa edi ebifaananyi; tumayite nga tulina yiswena okutegeera. Okutegeera okuleta kuleeta okwekulumbaza, naye okwendya kwomboka. 2 Omuntu nalowozanga ngaliiku kyetegeire abba akyali kutegera nga nekimugwanire okutegera. 3 Naye omuntu nayendya ONnyamwanga, amanyibwa Nnyamwanga. 4 Kale okulyanga ebiwebwayo edi ebifaananyi; Tumeite nti nke kifaananyi tikiintu munsi era nga ndowo Nyamwanga wondi wabula omwei. 5 Kuba newakubeire nga waliwo abetebwa banyamwanga ba mwiguru oba abo munsi (nka bwe waliwo "banyamwanga" abeyingi na "baami" abeyingi) 6 Naye gyetuli waliwo Nnyamwanga omwei, oyitto weiswe, omuzwa byonna naiswe tuli kulwoyo, no mukama weyiswe omwei, Yesu Kristo, abesyawo byonna era atubesyawo yiswe. 7 Naye, okutegera okwo tekuli mubantu bonna. Naye abandi, kubanga bamanyirire ebifaananyi okwikya ati, balya ekiweweibwe edi ekifaananyi. Emyoyo gyaabwe kunnaki gusigalamu okusisa. 8 Naye ekyokulya tekitusimisya edi Nnyamwanga. Netutalya ndowo kyetusubwa, era netulya ndowo kye tweyongeraku. 9 Naye mwekuumenge eddembe ryange lireme okufuka enkonge edi abannaki. 10 Kubanga omuntu omunaki na kubona we olina okutegera ngayikeire okumere omwiisabo lya kifaananyi okulya . Omwoyo gwamwei nimwo kubba munnaki tegwaliguma kulya biwebwa edi ebifaananyi? 11 Kale owoluganda oyo omunnaki Okristo gwe yafirire, abula olwa kutegera kwamu 12 Era otyo, nimwa sisanga abaluganda era ne musumuta omwo gwabwe, bwe gubbanga munnaki nga mukusisa Okristo. 13 Kale, oba ngekyokulya kyesitaza omuganda wange, tinalyenge nnyama emirembe gyonna nemenge kwesitazza muganda wange.