1
Ab'oluganda, kye ntaka mu mwoyo gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe niikyo kino, balokoke.
2
Kubanga mbategeezia nga balina okunyiikiririra Katonda, naye ti mu kutegeera.
3
Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bageziaku okutereezia obutuukirivu bwabwe ibo beene, tebasengererya butuukirivu bwa Katonda.
4
Kubanga Kristo niiye nkomerero y'amateeka olw'okuweesia obutuukirivu buli kwikirirya.
5
Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola niiye alibba omulamu mu ibwo.
6
Naye obutuukirivu obuva mu kwikiriya butumula buti nti Totumulanga mu mwoyo gwo nti Yani aliniina mu igulu? (niikwo kuleeta Kristo wansi;)
7
waire nti Yani aliika emagombe? (niikwo kuniinisia Kristo okuva mu bafu.)
8
Naye butumula butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naiwe, mu munwa gwo, ne mu mwoyo gwo: niikyo ekigambo eky'okwikirirya kye tubuulira:
9
kubanga bw'oyatula Yesu nga niiye Mukama n'omunwa gwo, n'oikirirya mu mwoyo gwo nti Katonda yamuzuukizirye mu bafu, olirokoka:
10
kubanga omuntu aikirirya no mwoyo okuweebwa obutuukirivu, era ayatula no munwa okulokoka.
11
Kubanga ebyawandiikiibwa bitumula nti Buli amwikirirya talikwatibwa nsoni.
12
Kubanga wabula njawulo y'oMuyudaaya n'oMuyonaani: kubanga omumu niiye Mukama waabwe bonabona, niiye mugaiga eri abo bonabona abamukungirira:
13
kubanga, Buli alikungirira eriina lya Mukama alirokoka.
14
Kale balikungirira batya gwe bakaali kwikirirya? era baliikirirya batya gwe bakaali kuwuliraku? era baliwulira batya awabula abuulira?
15
era balibuulira batya nga tebatumiibwe? nga bwe kyawandiikiibwe nti Ebigere byabwe nga bisa inu ababuulira enjiri ey'ebisa!
16
Naye tebagondeire njiri bonabona. Kubanga Isaaya atumula nti Mukama, yani Eyaikirirye ekigambo kyaisu?
17
Kale okwikirirya kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.
18
Naye ntumula nti Tebawuliranga? Niiwo awo, dala, Eidoboozi lyabyo lyabunire mu nsi gyonagyona, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero gy'ensi.
19
Naye ntumula nti Isiraeri tamanyanga? Musa niiye yasookere okutumula nti Ndibakwatisia eyali eri abatali beigwanga, Eri eigwanga eribula magezi ndibasunguwalya.
20
Era Isaaya aguma inu n'atumula nti Navumbuliibwe abo abatansagiranga, Nalagiibwe eri abo abatambuuliriryangaku.
21
Naye eri Isiraeri atumula nti Obwire okuziba nagololeire emikono gyange abantu abatawulira era abagaine.