1
Ne mpeebwa olugada olufaanana ng'omwigo, malayika ng'atumula nti Situka, opime yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinziziamu.
2
N'oluya oluli ewanza we yeekaalu luleke ewanza, so tolugera; kubanga lwaweweibwe ab'amawanga: n'ekibuga ekitukuvu balikityankirira emyezi amakumi ana n'eibiri.
3
Nzeena ndibawa abajulizi bange babiri, era baliragulira enaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bavaire ebibukutu.
4
Abo niigyo emizayituuni eibiri n'etabaaza eibiri egyemerera mu maiso ga Mukama w'ensi.
5
Era omuntu yenayena bw'ataka okubakola obubbiibi, omusyo guva mu munwa gwabwe, ne gwokya abalabe baabwe: era omuntu yenayena bw'ataka okubakola obubbiibi, kityo kigwana iye okwitibwa.
6
Abo balina obuyinza okusiba eigulu, emaizi galekenga okutonya mu naku egy'okutegeeza kwabwe: era balina obuyinza ku maizi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonabyona, emirundi emingi nga bwe bataka.
7
Era bwe balibba nga bamalire okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bwina obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribaita.
8
N'omulambo gwabwe guli mu luguudo lw'ekibuga ekinene, ekyetebwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomereirwe.
9
Era ab'omu bantu n'ebika n'enimi n'amawanga baboneire omulambo gwabwe enaku isatu n'ekitundu, ne bataganya mirambo gyabwe okuziikibwa mu magombe.
10
N'abo abatyama ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguzia; era baliweereziagana ebirabo; kubanga banabbi abo ababiri babonyabonyezerye abatyama ku nsi.
11
Oluvanyuma lw'enaku gidi eisatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu ibo ne bemerera ku bigere byabwe okutya okungi ne kugwa ku abo ababoine.
12
Ne bawulira eidoboozi einene eriva mu igulu, nga libakoba nti Muniine okutuuka wano. Ne baniina mu igulu mu kireri; n'abalabe baabwe ne nebababona.
13
Ne mu saawa edi ne wabbaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'eikumi eky'ekibuga ne kigwa; ne baitibwa abantu kasanvu mu kikankano: n'abo abaasigairewo ne bakwatibwa entiisia, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu igulu.
14
Obubbiibi obw'okubiri bubitire: bona, obubbiibi obw'okusatu bwiiza mangu.
15
Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabbaawo amaloboozi amanene mu igulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuukire bwa Mukama waisu, era bwa Kristo we: era yabafuganga emirembe n'emirembe.
16
N'abakaire amakumi abiri na bana, abatyama mu maiso ga Katonda ku ntebe gyabwe egy'obwakabaka, ne bavuunama amaiso gaabwe, ne basinzia Katonda,
17
nga batumula nti Tukwebalya, iwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonabyona, abbaawo era eyabbairewo; kubanga otwaire amaani go amangi, n'ofuga.
18
Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bwiiza, n'entuuko egy'okusaliramu omusango gw'abafu, n'egy'okuweeramu empeera yaabwe abaidu bo banabbi, n'abatukuvu, n'abatya eriina lyo, abatobato n'abakulu; n'egy'okwonooneramu aboonoona ensi.
19
Ne yeekaalu ya Katonda ey'omu igulu n'ebikulwa; ne waboneka mu yeekaalu ye esanduuku y'endagaanu ye; ne wabbaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi.