Ensuula 3

1 Ne ntumula nti Muwulire, mbeegayirire, imwe abakulu ba Yakobo, naimwe abafuga enyumba ya Isiraeri; ti kwanyu okumanya omusango? 2 abakyawa ebisa, era abaagala ebibbiibi; ababatoolaku ekiwu kyabwe n'omubiri gwabwe ku magumba gaabwe; 3 era abalya omubiri gw'abantu bange; ne bababbaagaku ekiwu kyabwe n'amagumba gaabwe bagamenya; niiwo awo, babatiimatiima ng'ebyaba mu kibya, era ng'enyama ey'omu ntamu. 4 Mu biseera ebyo bakungiranga Mukama, so tebairengamu; niiwo awo, yabagisanga amaiso ge mu kiseera ekyo, nga bwe baakola okubbiibi mu bikolwa byabwe. 5 Ati bw'atumula Mukama ku banabbi abakyamya abantu bange; abaluma n'amainu gaabwe, era batumulira waigulu nti Mirembe; na buli agaana okuwa mu minwa bwabwe, n'okukuma bamukumira olutalo; nti 6 Kyekiriva kibba obwire gye muli, muleke okwolesebwa; era endikirirya eribba gye muli, muleke okulagula; era eisana erigwira banabbi, era obwire bulirugala ku ibo. 7 N'ababoni balikwatibwa ensoni, n'abalaguli baliswala; niiwo awo, bona balibiika ku mimwa gyabwe; kubanga Wabula kwiramu kwa Katonda. 8 Naye mazima nze ngizwire amaani olw'omwoyo gwa Mukama, n'omusango n'obuzira, nkobere Yakobo okwonoona kwe era nkobere Isiraeri ebibbiibi bye: 9 Muwulire kino, mbeegayirira, imwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, naimwe abafuga enyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango, era abalya ensonga gyonagyona. 10 Bazimba Sayuuni n'omusaayi, era Yerusaalemi bakizimba n'obukyamu. 11 Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, na bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, na banabbi baakyo balagula baweebwe efeeza; naye ibo balyesigama ku Mukama nga batumula nti Mukama tali wakati waisu? akabbiibi tekalitutuukaku. 12 Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng'omutala ku bwanyu, ne Yerusaalemi kirifuuka ekifunvu, n'olusozi olw'enyumba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.