Ensuula 3

1 Awo mu mwaka ogw'eikumi n'eitaanu ku mirembe gya Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yabbaire nga niiye weisaza ly'e Buyudaaya, no Kerode bwe yabbaire nga niiye afuga e Galiraaya, no Firipo mugande bwe yabbaire nga niiye afuga Ituliya n'ensi ey'e Tirakoniti, ne Lusaniya bwe yabbaire nga niiye afuga Abireene; 2 no Ana no Kayaafa bwe babbaire nga niibo bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kizira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu idungu. 3 N'aiza mu nsi yonayona eriraine Yoludaani, ng'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okutoolebwaku ebibbiibi; 4 nga bwe kyawandiikiibwe mu kitabo eky'ebigambo bya nabbi Isaaya nti Eidoboozi ly'oyo atumulira waigulu mu idungu nti mulongoosie oluguudo lwa Mukama, Muluŋamye amangira ge. 5 Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa: N'ekikyamire kirigololwa, N'amangira agatali masende galitereezebwa; 6 N'abalina omubiri bonabona balibona obulokozi bwa Katonda. 7 Awo n'akoba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa iye nti Imwe abaana b'emisota, yani eyabalabwire okwiruka obusungu obwaba okwiza? 8 Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kutumula mukati mwanyu nti Tulina zeiza niiye Ibulayimu: kubanga mbakoba nti Katonda asobola amabbaale gano okugafuuliranga Ibulayimu abaana. 9 Ne Atyanu empasa eteekeibwe ku kikolo ky'emisaale kale buli musaale ogutabala bibala bisa gutemebwa, gusuulibwa mu musyo. 10 Ebibiina ne bamubuulya nga bakoba nti Kale tukole ki? 11 N'airamu n'abakoba nti Alina ekanzo eibiri, amuweeku eimu abula, n'alina emere akole atyo. 12 N'abawooza ne baiza okubatizibwa, ne bamukoba nti Omuyigiriza tukole ki? 13 N'abakoba nti Temusoloozianga kusukirirya okusinga bwe mwalagiirwe. 14 Era basirikale ne bamubuulya, nga bakoba nti Feena tukole ki? n'abakoba nti Temujooganga muntu so temukakanga; era empeera yanyu ebamalenga. 15 Awo abantu bwe babbaire nga basuubira, era bonabona nga balowooza ebigambo bya Yokaana mu myoyo gyabwe oba nga koizi niiye Kristo; 16 Yokaana n'airamu n'akoba bonabona nti Mazima nze mbabatiza n'amaizi; naye aiza y'ansinga amaani, so nzeena timsaanira kusumulula lukoba lwe ngaito gye: niiye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omusyo: 17 olugali niirwo luli mu mukono gwe, okulongoosia einu eiguuliro lye, n'okukuŋaanyirya eŋaanu mu kideero kye; naye ebisusunku alibyokya n'omusyo ogutazikira. 18 Era n'ababuulirira ebindi bingi ng'abuulira abantu ebigambo ebisa; 19 naye Kerode owiesaza, bwe yamunenyere olwa Kerodiya muka mugande, n'olw'ebigambo ebibbiibi byonabyona Kerode bye yakolere, 20 ate ku ebyo byonabyona n'ayongeraku kino, n'akwata Yokaana n'amuteeka mu ikomera. 21 Awo olwatuukire, abantu bonabona bwe babbaire nga babatizibwa, no Yesu bwe yamalire okubatizibwa, bwe yasabire, eigulu ne libikkuka. 22 Omwoyo Omutukuvu n'aika ku iye mu kifaananyi eky'omubiri ng'eiyeba, n'eidoboozi ne lifuluma mu igulu nti Niiwe mwana wange omutakibwa; nkusanyukira inu. 23 Era Yesu mwene, bwe yasookere okwegeresya, yabbaire yaakamala emyaka nga asatu nga niiye mwana (nga bwe yalowoozeibwe) owa Yusufu, mwana wa Eri, 24 mwana wa Matati, mwana wa Leevi, mwana wa Mereki, mwana wa Yanayi, mwana wa Yusufu, 25 mwana wa Mattasiya, mwana wa Amosi, mwana wa Nakumu, mwana wa Esuli, mwana wa Nagayi, 26 mwana wa Maasi, mwana wa Matasiya mwana wa Semeyini, mwana wa Yoseki, mwana wa Yoda, 27 mwana wa Yokanaani, mwana wa Lesa, mwana wa Zerubaberi, mwana wa Seyalutiyeeri, mwana wa Neeri, 28 mwana wa Mereki, mwana wa Addi, mwana wa Kosamu, mwana wa Erumadamu, mwana wa Eri, 29 mwana wa Yesu, mwana wa Eryeza, mwana wa Yolimu, mwana wa Matati, mwana wa Leevi, 30 mwana wa Simyoni, mwana wa Yuda, mwana wa Yusufu, mwana wa Yoaamu, mwana wa Eriyakimu, 31 mwana wa Mereya, mwana wa Mena, mwana wa Matasa, mwana wa Nasani, mwana wa Dawudi, 32 mwana wa Yese, mwana wa Obedi, mwana wa Bowaazi, mwana wa Salumooni,mwana wa Nakusoni, 33 mwana wa Aminadaabu, mwana wa Aluni, mwama wa Kezulooni, mwana wa Pereezi, mwana wa Yuda, 34 mwana wa Yakobo, mwana wa Isaaka, mwana wa Ibulayimu, mwana wa Teera, mwana wa Nakoli, 35 mwana wa Serugi, mwana wa Lewu, mwana wa Peregi, mwana wa Eberi, mwana wa Sera, 36 mwana wa Kayinaani, mwana wa Alupakusaadi, mwana wa Seemu, mwana wa Nuuwa, mwana wa Lameki; 37 mwana wa Mesuseera, mwana wa Enoki, mwana wa Yaledi, mwana wa Makalaleeri, mwana wa Kayinaani, 38 mwana wa Enosi, mwana wa Seezi, mwana wa Adamu, mwana wa Katonda.