1
Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we mu kida olw'ekyenyanza.
2
N'ayogera nti Nakungiriire Mukama kubanga naboine enaku, N'angiramu; Mu kida ky'emagombe nakoowoire; N'owulira eidoboozi lyange.
3
Kubanga wanswire mu buliba, mu mwoyo ogw'enyanza, Amataba ne ganeetooloola; Amayengo go gonagona n'amasingiisira go gaabitire waigulu ku nze.
4
Ne ntumula nti Mbingiibwe mu maiso go; Naye nalingiriire ate yeekaalu yo entukuvu.
5
Amaizi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu; Obuliba bwaneetooloire; Endago gyambikire ku mutwe gwange.
6
Ne njika ensozi we gisibuka; Ensi n'ebisiba byayo ne binjigalira emirembe gyonagyona; Naye otoiremu obulamu bwange mu bwina, ai Mukama, Katonda wange.
7
Emeeme yange bwe yazirikire mu nze, ne njijukira Mukama; N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu yeekaalu yo entukuvu.
8
Abo abateekayo omwoyo ku by'obubbeyi ebibulamu balekayo okusaasirwa kwabwe.
9
Naye nze naakuwa sadaaka yange n'eidoboozi ery'okwebalya; Nasasula obweyamu bwange. Obulokozi buva eri Mukama.
10
Awo Mukama n'alagira ekyenyanza ne kisesema Yona ku lukalu.